Omusubuuzi bamusibye lwa birungo bya mmere ebitatuukana mutindo. Musa Mustapha Ndali 36, omusubuuzi nga mutuuze w’e Busaabala mu Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso y’avunaaniddwa okukola ebintu nga talina lukusa.
Yavunaaniddwa okukola ebintu nga talina lukusa okuva mu kitongole ky’eby’omutindo ekya UNBS.
Omulamuzi Gladys Kamasanyu owa kkooti ya Standards, utilities and wildlife e Makindye yamusomedde omusango era n’agwegaana bw’atyo n’amusindika mu kkomera okutuusa nga November 16, 2026.
Kigambibwa nti ono mu September 2025 e Busaabala ysangibwa ng’akola n’ekigendererwa ky’okutunda ,ebirungo byemmere okuli Isaco ne Walmus nga tebikakasiddwa kitongole kya UNBS.