Omusumba Mukasa akoze enkyukakyuka mu baweeereza

OMUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa akoze enkyukakyuka mu basaserdooti mu ssazalye mu kawefube w'okutumbula empeereza y'emirimu.

Omusumba Mukasa akoze enkyukakyuka mu baweeereza
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
OMUSUMBA w'essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa akoze enkyukakyuka mu basaserdooti mu ssazalye mu kawefube w'okutumbula empeereza y'emirimu.
 
Munkyukakyuka zino awummuza Vicar genero w'essaza lino Msgr. Francis Ekizevia Mpanga n'amutuma ogwa guno na guli n'okussaawo Kankoole Parish ng'amyukibwa Fr. Bruno.
 
Abadde Bwanamukulu wa Ziroobwe Fr. Vincent Mukiibi amuwadde obwa Munsonyoli n'okubeera Vicar genero w'essaza e Ziroobwe n'atumayo Fr Peter Masembe Mukasa abadde mu kitongole ky'ebyobulamu.
 
Abadde Bwanamukulu wa Katikamu Fr Achilles Kiwanuka ye muwanika w'essaza, Dr. Cyril Kasigwa abadde chancellor w'essaza ye Pastoral coordinator n'okubeera Bwanamukulu wa Katikamu. 
 
Emmanuel Rwevuze abadde e Kalulu ye Chancellor w'essaza ate abadde Bwanamukulu wa Kasana cathedral parish Fr. Denis Sebuggwaawo eyafuna obukosefu mu mubiri gwasindisebe Kalulu nga Bwanamukulu,  Tonny Sekimpi asindikiddwa ku cathedral ng'omuyambi ne Joseph Mukasa.
 
Deacon David Nkugwa Kato asindikiddwa Nandere, Charles Ntume y'amyuka chaplain, Fr. John Mary Mpozzi atumiddwa Nakasongola okutwala amasomero n'abalala.
 
Frank Mugga wa bya bulamu, Francis Luboneta wa bavubuka ate Boniface Senteza wa pulojekiti
 
EBIGO 10 EBITONDEDDWAWO NAYO ATUMYEYO.
EriyavKayoga agenze Mugogo, Denis Kakooza atumiddwa Kansiira, Paul Sam Kafeero asindikiddwa Kazwama, Fr. Kayiwa atumiddwa Kyegonbwa, Edward Mulindwa atumiddwa Lwampanga, Alfred Ddumba atwaliddwa Katuugp, Kizito Mapeera atumiddwa Butalangu, Fr Kalungi atumiddwa Waluleeta ssonga Ponsiyano Ssonko amututte Nakitoma