Bya Vivien Nakitende
OMUSUMBA w’ekkanisa ya St. Stephen e Kabowa, Henry James Lukyamuzi, akubirizza Abakrisitaayo okufaayo ennyo ku mannya ge batuuma abaana baabwe kubanga gabagenderako ne gabafuula kye babeera mu bukulu.
Bino abyogeredde mu kusaba kw’okukuza olunaku lw’omutuukirivu Stephen ku kkanisa ya St. Stephen e Kabowa ku Ssande, olutambulidde ku mulamwa ogugamba nti; “Amaanyi g’okwebaza”.
Agambye nti , eriyo amannya mangi agategeeza ebintu eby’enjawulo, naawa ekyokulabirako kya Gorriath mu Bayibuli, nti wadde yali wa maanyi, naye olw’ebyamutuukako bangi batya okutuuma abaana baabwe erinnya eryo.
Omusumba Lukyamuzi abadde n’Omusumba Simon Peter Ddembe lya Yesu naye akubirizza Abakrisitaayo okuyiga okwebaza Katonda naye afune amaanyi agabongera.
Omusumba Ddembe agambye nti abantu bangi baasaba Katonda ebintu naye ne bateebaza ky’agambye nti kikyamu kubanga bw’omwebaza naye akwongera.
Abasibiridde entanda okuyiga okwebaza nti kubanga, kulimu ekyama era kukuuma enkolagana yo n’abantu wamu ne Katonda.
“Amaka nago geetaaga okwebaza, omukyala weebaze omwami wo byakukolera , omwami naawe weebaze mukyalaawo by’akukolera ate n’abaana beebaze abazadde bye babakolera, awo enkolagana ejja kuwangaala” Omusumba Ddembe bw’agambye.