Omulabirizi w'e Luweero omulonde Abakrisitaayo baamwanirizza n'essanyu

 Omulabirizi w’e Luweero alindiridde okutuuzibwa ku Ssande, Can. Wilson Kisekka agambye nti embeera gye yasanze e Luweero nzikakkamu nnyo era Abakulisitaayo baamusanyukidde nnyo omulundi gwe baasoose okumulabako.

Minisita Lugoloobi ng'asiibula Can. Kisekka n'omukyala.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Omulabirizi #Luweero #omulonde #Abakrisitaayo #baamwanirizza #essanyu

Bya Saul Wokulira      

 Omulabirizi w’e Luweero alindiridde okutuuzibwa ku Ssande, Can. Wilson Kisekka agambye nti embeera gye yasanze e Luweero nzikakkamu nnyo era Abakulisitaayo baamusanyukidde nnyo omulundi gwe baasoose okumulabako.

 Agambye nti bwe yagenze e Luweero omulundi gwe ogwasoose bukya alondebwa ng'Omulabirizi, Abakulisitaayo baamusanyukidde nnyo era bamulindiridde mu kitiibwa kye nga taata.

Bino Can. Kisekka abyogeredde ku kitebe ky’Obussabadinkoni e Ndeeba mu Bugerere gy’abadde aweereza mu kusaba mw’asiibulidde Abakulisitaayo ng' agenda ku buweereza obw’Obulabirizi, Katonda bwe yamukwasizza.

 Can. Kisekka agambye nti yasanze ekkanisa e Luweero ng' etambula bulungi era nti bw’anaatuuzibwa ku ntebe ng'Omulabirizi waakukwata ekkanisa agibuulire enjiri ya Kristu.

 Abakulisitaayo nga bakulemberwa omukubiriza w’Obussabadinkoni Nelson Kanyike n’omuwanika Margaret Ssempala Nambi baatonedde Can. Kisekka ebirabo ebya ssente enkalu ze baatadde mu mabaasa okumwebaza n’okumusiibula olw’omulimu gw’abakozeemu.

Omukubiriza w’Obussabadinkoni bw’e Ndeeba akakasizza nti emirimu gyonna Can. Kisekka gy’abadde atandiseeko nga Ssabadinkoni baakugitwala mu maaso bagimalirize.

Mukyala w’omulabirizi nga ye Rachael Kisekka asabye abazadde obutamala gaziyiza baana bawala kufumbirwa baami be balonze kubanga naye bwe yali afumbirwa Wilson Kisekka teyakimanya nti alibeerako Omulabirizi.

Minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga, Amos Lugoloobi asibiridde Omulabirizi obubaka bw’atadde mu luyimba 335 olwa Yesu byonna abimanyi…… n’amukuutira obutaterebuka wabula atuukirize obuvunaanyizibwa Katonda bw’amutumye.

Minisita Lugoloobi yeeyamye nti y’agenda okukulemberamu banne ku Lwokusatu nga Can. Kisekka atwalibwa e Luweero mu butongole ate olwo ku Ssande nga  March 24, 2024 alyoke atuuzibwe ng' Omulabirizi.