Bishop wa Jinja Diocese Martin Wamika asabye Abkresto okuwagira ebigo ebipya byebaggulawo n'ekigendererwa eky’okufuna obuweerezza obw’okumpi n'okubikulankulanya.
Bishop Wamika okwogera bino abadde ayogerako eri abantu ku mukolo gw'okussa ku baana 181 ababadde basoma omujiji emikono,okugatta abagole emigogo 4 n'okusonda ssente z’okuzimba enyumba y'omusosodoti w’ekigo kya St.Assisi BulubFrancis a catholic parish e Buluba mu Ggombolola y’eBaitambogwe mu disitulikiti y’eMayuge.
Bishop Wamika era asabye Abakresto bulijjo okukolagana n'abasosodoti bebabawereza nga babasanyusa okusinga okubalwanyisa kubanga bwebabeera abasanyufu basobole okubawerezza obulungi nga bwekyetagisa.