Omusomesa wa pulayimale agambibwa okukabassanya omuyizi omulenzi bamwongeddeko ogw'okutigaatiga

8 hours ago

Eby'omusomesa w'e Kabojja Junior agambibwa okugezaako okukabassanya omuyizi omulenzi byongedde okwonooneka kkooti bw'emwongeddeko ogw'okutigaatiga.

Omusomesa wa pulayimale agambibwa okukabassanya omuyizi omulenzi bamwongeddeko ogw'okutigaatiga
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Omuyizi #Musomesa #Pulayimale #Agambibwa #Kwogera #Okukabassanya

Eby'omusomesa w'e Kabojja Junior agambibwa okugezaako okukabassanya omuyizi omulenzi byongedde okwonooneka kkooti bw'emwongeddeko ogw'okutigaatiga.

Godfrey Muwumuza 43, omusomesa omutendeke ku ssomero lya Kabojja Junior School omutuuze w’e Gayaza Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso ye yabadde azze okusaba okweyimirirwa oluvannyuma lw'okumala ebbanga lya nnaku 10 mu nkomyo e Luzira.

 

Kimubuuseeko omuwaabi wa gavumenti, Joan Keko bwe yategeezezza kkooti nga bwe bakyusizza mu mpaaba ne bongerako omusango omulala.

Keko yasabye omulamuzi Ronald Kayizzi akkirize enkyukakyuka ezaakoleddwa mu mpaaba y'oludda oluwaabi.

Omusango ogumugattiddwako, kigambibwa nti Muwumuza yatigaatiga omwana atanneetuuka bwe baali bava okulambula mu bituundu bya Kampala ne Mbarara era nga bino byatuukawo nga May 4 ne 5, 2025.

Era kigambibwa nti ono yagezaako okukabassanya omwana omulenzi atanneetuuka nga bino byonna byatuukawo mu ekiseera kye kimu.

Empaaba ya kkooti eraga nti yatandika okutigaatiga omwana ono nga bali ku lugendo lw’okulambula bwe yakwata omukono ggwe nga agukakaatika ku busajja bwe.

Omulenzi yalaba kimususseeko n’asituka n’akyusa ekifo we yali atudde kyokka Muwumuza n’amulumbayo, era kye yakola kwe kufuna essimu kwe yafunira maama we n’amubuulira ekyali kimutuuseeko.

Wabula bino byonna yabyegaanyi, omuwaabi wa gavumenti n'ategeeza kkooti nga okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso era omusango yagwongeddeyo okutuusa nga June 4, 2025 lw’anaasaba okweyimirirwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.