Ekyalo Kisoga -Namanyonyi ekisangibwa mu ggombolola y’e Kimenyedde mu disitulikiti y’e Mukono kyaguddemu ekyekango abaana babiri bwe baabuzeewo mu ngeri etategeerekeka.
Omulambo Gwa Naddumba Ogwasangiddwa Mu Nnimiro Nga Guyiwiddwa Ebyenda.
Oluvannyuma lw’okusamba ensiko ekiro n’emisana, omu ku baana bano yasangiddwa nga yattiddwa mu ntiisa nga n’ebitundu bye eby’ekyama byasaliddwako abatemu ne babulawo nabyo.
Okusinziira ku taata w’omugenzi, Musa Ddumba omutuuze w’e Makindye mu kibuga Kampala, yafuna amawulire g’okubula kwa muwala we, Mariam Naddumba 6, ku Lwokubiri ekiro ssaawa nga 4:00 okuva ewa jjajja w’omwana, Jane Naburu abadde abeera naye mu kyalo.
Ddumba agamba nti yagenda mu kyalo n’akunga abatuuze okumwegattako mu kunoonya omwana we.
Ntege Eyabuulira Abatuuze Ng'omwana Bwe Yali Attiddwa.
Agamba nti nnyina Naburu nga y’abadde abeera ne muzzukulu we ono yategeeza nti bwe bannyuka ku lubimbi akawungeezi ku Lwokubiri ssaawa nga 12:00, baayitira ewa mukwano gwe, Florence Zalwango bwe bali mu myaka gye gimu ng’eno gye baasembayo okulaba ku mwana era yagenda okuva wano nga banoonya Naddumba tebamulaba.
Oluvannyuma lw’okunyinyitiza omuyiggo, beezinga ku mukadde Zalwango n’ob’omu maka ge omwana gye yasembayo okulabikako ne bakizuula nti mu maka ge gamu, era mwe mwali n’omwana eyasooka okubula ng’ono emyezi gigenze mw’esatu naye talabikako.
Ddumba (ow'okubiri Ku Kkono) Taata W'omugenzi Ng'alaga Abakulembeze We Baasanze Omulambo.
Bagamba nti omukadde Zalwango ne muzzukulu we baakwatibwa ne batwalibwa ku poliisi ng’oluvannyuma n’omulala yakwatibwa n’ayogera ng’omwana bwe yali amaze okuttibwa.
Wabula n’ono poliisi yamuggye ku batuuze abaabadde bamaze okutaama n’emutaasa oluvannyuma ne bagenda gye yabadde abalagiridde ne bagwa ku mulambo gw’omwana mu musiri gwa kasooli nga gwasaliddwa ebyenda biri bweru nga n’ebitundu by’ekyama abazigu baakuuliise nabyo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu kitundu ekya Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti abantu bana be baakakwatibwa ku byekuusa ku ttemu lino omuli; Moses Ssenoga, Jackson Ntege ne Florence Zalwango ssaako Jane Naburu, ng’ono ye jjajja w’omwana abadde abeera naye.
Owoyesigyire yagambye nti poliisi yabakanye dda n’okunoonyereza nga bw’enaamaliriza bano baakusimbibwa mu mbuga z’amateeka baggulweko ogw’obutemu.
Ssentebe w’eggombolola eno, Hajji Juma Lubega yatuuse mu kifo omulambo gw’omwana we gwasangiddwa n’ategeeza nti okusinziira ku kifo kino, tewali kiraga kyonna nti wano we yattiddwa nga kyandiba nga baamaze okumutta ne balyoka basuula wano omulambo.
Ssentebe w’ekyalo, Henry Wasswa naye yannyonnyodde ku nsonga z’abaana ababiri bano ng’agamba nti eyasooka okubula ng’ava mu maka ga Zalwango omugambibwa nti be bamu be balina akakwate ku kuttibwa kw’omwana ow’okubiri.
Wasswa yagambye nti ettemu lino lyandiba nga lyekuusa ku busamize kuba ku kyalo beetooloddwa amasabo.