Poliisi e Kayunga ebuuliriza ku bakuumi ba Hon Erios Idah Nantaba, be balumiriza okukuba n'okulumya abantu basatu wakati mu kavuyo mu lukungaana.
Abaalumiziddwa, kuliko Tonny Okiri 27 omusomesa nga mutuuze w'e Kyagalidde B mu Ggombolola y'e Kitimbwa e Kayunga, Musa Odele 22 ne Bernard Etiau 19 nga nabo batuuze ku kyalo kye kimu.

Omu ku baakubiddwa ng'alaga ebiwundu
Bino okutuukawo, kigambibwa, Hon Nantaba nga y'omu ku besimbyewo okuvugunya mu kifo ky'omubaka omukyala owa district y'e Kayunga , yabadde akubye olunkungaana e Kyagalidde B nga n'ekyadiridde e kibinja ky'abavubuka okukasuukirira a bakuumi ba Nantaba amayinja.
Kigambibwa nti abakuumi bano ababibiri, kwe kukwatako bano abasatu ne babakuba nti n'oluvannyuna ne babatwala ku poliisi e Kitimbwa gye bagiddwa okuboongerayo ku poliisi e Kayunga kyokka nga batonnya musaayi.
Ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti omusango gw'okulumya, gwaguddwawo era ne statement ya Nantaba gye yawandiise n'eteekebwa ku fayiro ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Ensonda zigasseeko nti, waabaddewo olukiiko olwamangu olwetabiddwamu abebyokwerinda e Kayunga nti kyokka Nantaba teyalumazeeko n'afuluma ng'agamba nti walibaawo ekigendererwa eky'okwagala okumujjako abakuumi be okuva eri abamulwanyisa.