Amawulire

Abasajja babiri abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kibba waya zamasannyalaze bakwatiddwa

Abasajja babiri abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kibba waya zamasannyalaze n'ebikozesebwa ebirala, bakwatiddwa poliisi. 

Ezimu ku waya ezikwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abasajja babiri abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kibba waya zamasannyalaze n'ebikozesebwa ebirala, bakwatiddwa poliisi. 

Mu kikwekweto ekikoleddwa, era poliisi ezinzeeko sitoowa eziwerako mwezuulidde wire, ebyuma ne kalonda omulala agambibwa okuba omubbe. 

Abakwatiddwa bonna, kigambibwa nti baaliko abakozi b'ekitongole kya  UMEME nga kuliko Godfrey Kamoga ow'e Bajjo Kisingiri ne Geoffrey Kasagga omutuuze w'e Namaliga West e Bombo. 

Ezimu ku waya ezikwatiddwa

Ezimu ku waya ezikwatiddwa

Kigambibwa nti abakwate, bakulembeddemu abasirikale ne babatwala ku sitoowa e Nkokonjeru ne Bajjo ezigambibwa nti mwe baludde nga batereka ebintu by'amasannyalaze ebibbe. 

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Tweanamazima, agambye nti bazudde cables, pliers, waya ne kalonda omulala ow'ebyamasannyalaze.
Ayongeddeko nti baliko abalala babiri okuli Medi ne Ismail nabo abakwatiddwa nga bwe banoonya sitoowa endala mwe babadde batereka ebibbe

Tags: