Amawulire

OMUNTU omu afiiridde mu kabenje akagudde e Buhweju n'omulala omu n'agendera ku bisago

OMUNTU omu afiiridde mu kabenje akagudde e Buhweju n'omulala omu n'agendera ku bisago mmotoka bw'eremeredde dereeva n'egwa ne yefuula emirundi egiwerako .

Emmotoka ekoze akabenje
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUNTU omu afiiridde mu kabenje akagudde e Buhweju n'omulala omu n'agendera ku bisago mmotoka bw'eremeredde dereeva n'egwa ne yefuula emirundi egiwerako .

Akabenje kabadde ku kyalo Misana ku luguudo oluva e Nsiika okudda e Bwizibwera, mmotoka nnamba UBQ 335U Canter , bw'egudde n'etta Felix Tumuhimbise 49 omutuuze w'e Nyarumbora mu Ggombolola y'e Buhunga mu disitulikiti y'e Buhweju.

Omwogezi wa poliisi e Bushenyi , Gerald Byamugisa,  agambye nti dereeva bamunoonya oluvannyuma lw'okudduka ate ng'omulala alumiziddwa Leonidas Muhamya 18,  ali mu kufuna bujanjabi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: