TAATA agambibwa okukkakkana ku baana be ababiri n'abakuba n'abatta ng'abateeberezza okubba ebintu mu dduuka, poliisi emukutte.
Ssemata Ssebaggala omusawo w'ekinnansi e Kalagala Cell mu muluka gw'e Ddundu e Naggalama mu Mukono, y'ayiggibwa ku bigambibwa nti yakubye abaana be okuli ow'emyaka 15 n'omulala ow'emyaka 9 n'abatta.
Kigambibwa nti yabakubye ku Mmande ng'abalumiriza okubba ebintu okuva ku dduuka nti era omu n'amuttirawo omulala n'afiira mu ddwaaliro e Mulago.
Kitegeezeddwa nti yeekobaanye ne munne Majid Matabalo ne bapakira omulambo gw'omwana ow'emyaka 15 mu mmotoka ekika kya Harrier nnamba UAX 274 K ne bagutwala e Lugalambo -Kololo mu Mabira Forest, omulambo ne bagusuulira nnyina.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, alabudde abazadde okukomya ebikolwa by'okutulugunya abaana.