Kkooti eragidde wooteri okuliyirira obukaddde 10 eri kaasitoma gwe yaguza bbiya ayiseeko n'acankalana mu lubuto
Ruth Nazziwa yagenda ku wooteri emu ku luguudo lw'e Entebbe mu 2018 n’agula bbiya kyokka baamuwa yayitako era yafuna okucankalanyizibwa mu lubuto n’agenda e South Africa gye yafuna obujjanjabi.
Yaddukira mu kkooti n’awawaabira wooteri okumuguza bbiya ayiseeko, ne kkampuni ya bbiya kyokka omulamuzi Isaac Teko mu nsala ye alagidde wooteri esasule Nazziwa obukadde 10 okumuliyirira kubanga baalina obuvunanyizibwa okukebera ennaku z’omwezi ez’ebintu bye baguza bakaasitoma.
Era babalagidde bamusasule emitwalo 240,000# olw’okutaataganyizibwa kwe yafuna ku olwo ng’ali lu wooteri yaabwe. Yo kkampuni ya bbiya yejjeerezeddwa .