OMULIRO guzzeemu okwokya ab’omu Ndeeba nga ku luno gusaanyizzaawo amaduuka ga sipeeya 12 emmaali ya buwumbi n’efuuka vvu!
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, yategeezezza nti omuliro gwatandise ssaawa 4.00 ez’ekiro kya Paasika, ekitongole kya poliisi ekizikiza omuliro ne kituukaayo mu bwangu okutuuka ku ssaawa 9:00 ez’ekiro ne basobola okuzikiza, naye ng’amaduuka ga sipeeya 12 gaabadde gamaze okusaanawo.
Abasuubuzi ab’enjawulo baabuulidde Bukedde nti omuliro guno tekaabadde kabenje wabula gwakoleezeddwa mu bungerevu kubanga baasanze ebicupa 2 ebiteeberezebwa okubeera ebyabaddemu petulooli eyakozeseddwa okubookya.
Poliisi ya Ndeeba ng’ekulembeddwaamu Murishid Katega yatutte ebicupa okuyambako mu kunoonyereza ku kyavuddeko omuliro.
Musa Yiga amawulire g’omuliro yagafunye ali waka kwe kudduka kiwalazzima okutaasa emmali ye wabula yagenze okutuuka ku dduuka nga tewali ky’ayinza kutaasa.
Abasuubuzi abalala abaafiiriddwa emmaali kuliko: Fazil Jowaali, Eddy Tweheo amanyiddwa nga Wasswa Kikofiira, Hamdan Kintu yafiiriddwa amaduuka 2, Issa Buyinza, Vincent Kiweewa, Godfrey Kizza n’abalala beebamu ku bafiiriddwa emmaali ebalirirwa mu buwumbi n’obuwumbi mu muliro guno.