ABA bodaboda bana abaakubiddwa ababbi mu bitundu eby’enjawulo mu kiro ekyakeeseza Olwokusatu, bakwasizza abantu abawerako mu zooni ya Wansanso e Katwe, poliisi gy’ekoze ekikwekweto.
Mu kikwekweto kino, poliisi efuuzizza buli muntu alina akakwate ku kubba bodaboda wamu n’okuyoola entuumu n’entuumu za sipeeya wa ppikippiki.
Akulira ekitongole kya Poliisi ekikessi e Katwe, Ali Katende ye yaduumidde ekikwekweto mwe baafuuzizza amaduuka ne galagi eziwerako mu kitundu.ABABBIDDWA
Wilber Mukaragye y’omu ku ba bodaboda abaagudde ku kyokya era nga naye ppikippiki ye yabbiddwa. Mukaragye agamba nti yafunye omusaabaze nga mukazi gwe yaggye ku siteegi ya poliisi ya Jinja Road ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro ng’amutwala Ntinda. Kyokka bwe yamutuusizza n’amugamba amwongereyo ku luguudo olumanyiddwa nga Ttula Road.
“Omukazi ono bwe yatuuse w’aviirako, mu kuba ng’aggyayo ssente mu kasawo, abasajja ne bafubutuka mu kazikiza akaabaddewo n’amajambiya ne bangwa mu bulago okukkakkana nga ppikippiki yange nnamba UGF 969N bagitutte. Natuukiridde poliisi n’ennyambako okuginoonya. Twagirondodde n’akuuma akalondoola ebidduka kyokka n’etubulako mu zooni ya Wansanso e Katwe.”
Poliisi bwe yabadde ekyali ku muyiggo guno, ne Muhammad Kasule okuva e Kabasanda mu