Omuliro gusaanyizzaawo amaduuka e Lugazi

OMULIRO omulala guzzeemu okusaanyaawo emmaali y’abasuubuzi e Lugazi bwe gukutte ekizimbe okuli amaduuka bannanyini go ne basattira.

be bazimyamwoto nabo nga balwana okuzikiza omuliro
NewVision Reporter
@NewVision

OMULIRO omulala guzzeemu okusaanyaawo emmaali y’abasuubuzi e Lugazi bwe gukutte ekizimbe okuli amaduuka bannanyini go ne basattira.
Bayise poliisi okuguzikiza kyokka we baatuukiddeyo nga mmotoka ezikiriza omuliro yafudde bakanika nkanike kwe kukomawo nga bakaaba. Bangi balabiddwaako nga bafulumya ebintu byabwe kyokka nga bye bafulumya ate waliwo abadduka nabyo.
Ekizimbe ekikutte omuliro kiri ku luguudo Nabugabo mu kibuga Lugazi nga kiriko amaduuka ga sipeeya, ebbaala, loogi, ssaako ebirabo by’emmere. Abaduukirize baalwanye okuzikiza omuliro ogwatandikidde mu sitoowa ya petulooli kyokka nga gweyongera bweyongezi era kuliko omu gwe gwayokezza ne bamutwala mu ddwaaliro.
Abaserikale abazikiza omuliro okuva ku poliisi e Lugazi wamu ne OC, Hussein Musiho baatuuse mu kifo kino kyokka nga tebalina mmotoka eguzikiriza nga mu kaseera kano gwabadde gwagala kukwata bizimbe ebiriraanyeewo.
Ng’abasuubuzi basomba ebintu okubifulumya, mmotoka za kkampuni ya SCOUL ezizikiriza omuliro 2 zaatuuse era bano baggyeeyo ebyuma abaserikale bye bakozesezza okutuusa lwe baaguzikizza. Kkansala Cathy Nazziwa akiikirira Nakazadde ku lukiiko lwa Lugazi Central Division, yagambye nti omuliro gwavudde ku bulagajjavu bw’abakulembeze mu Lugazi abataafuddeyo kuteekesa mateeka mu nkola.
Yagambye nti kikyamu sitoowa ya petulooli okugissa ku kizimbe okuli amaduuka amangi n’okuleka abantu naddala abookya kasooli okubeera okumpi ddala n’essundiro ly’amafuta erya Total kumpi ne paaka ya takisi.
RDC wa Buikwe, Rtd. Maj David Matovu yalagidde poliisi okunoonyereza ku bifo ebikola emirimu nga gino bafune we batereka amafuta gaabwe okugassa mu bizimbe by’ebyobusuubuzi