Amawulire

Omulimu gw'okuzimba ekitebe kya Bible Society ekipya gutandise

Omulimu gw'okuzimba ekitebe kya Bible Society of Uganda gugyiddwako akawuuwo.

Omulimu gw'okuzimba ekitebe kya Bible Society ekipya gutandise
By: Mathias Mazinga, Journalists @New Vision

Bya Mathias Mazinga

Omulimu gw'okuzimba ekitebe kya Bible Society of Uganda gugyiddwako akawuuwo.

Guwomeddwaamu omutwe kkampuni ya Canaan Construction Limited, ne Fencon Consulting Engineers.

Ku Lwokutaano nga November 5, Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu, n'abakulu abalala, baakyaddeko ku kitebe ky'ekibiina kino, e Wandegeya (Plot 38, Bombo Road) ne balaba omulimu gw'okuzimba bwe gutambula. Baalambuzziddwa Ying. Michael Pande, ne Ying. Augustine Byaruhanga..

Ssaabawandiisi wa Bible Society of Uganda, Simon Peter Mukhama ategeezezza nti ssente zonna, obuwumbi bubiri, ezeeyambisiddwa okutandika omulimu, zikunganyiziddwa okuva mu Bannayuganda, abawaddeyo ensimbi za Uganda akakadde kamu okufuuka bammemba b'ekibiina ab'enkomeredde. Endala zivudde mu bantu abawaddeyo emitwalo 10, okuwandiika ennyiriri za Bayibuli.

Yategeezezza nti ekizimbe kino kyakumalawo obuwumbi bw'ensimbi za Uganda 31, era nga kijja kuggweera mu myezi 18.

Omukolo gwetabiddwaako abakungu okwabadde Direkita wa KCCA, Dorothy Kisaka, Ssabakristu wa Uganda Gervase Ndyanabo, Bishop Joshua Lwere, Ssentebe w'olukiiko oluddukanya Bible Society, Fr. Dr. Mark Richard Ssajjabbi, Pulezidenti wa Bible Society, Justice Mike Chibita, Dr. Ruth Nankabirwa, Rt. Lt. Col. Robert Ssekidde, Munnabyanfuna Emmanuel Katongole n'abalala.

 

Tags:
Bible Society