Amawulire

Gibadde miranga na biwoobe mu kuziika Mukhama abadde akulira Bible Society

ABADDE akulira ekibiina ekivunaanyizibwa ku kuvvuunula Bayibuli ekya Bible Society, Dr. Simon Peter Mukhama aziikiddwa abakungubazi  ne basaba okumutwala nga eky’okulabirako.

Gibadde miranga na biwoobe mu kuziika Mukhama abadde akulira Bible Society
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

ABADDE akulira ekibiina ekivunaanyizibwa ku kuvvuunula Bayibuli ekya Bible Society, Dr. Simon Peter Mukhama aziikiddwa abakungubazi  ne basaba okumutwala nga eky’okulabirako.

Mukhama yaziikiddwa ku Lwokubiri ku kyalo Nabumali mu Mbale. Waafiiridde abadde ateekateeka okujaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu ne mukyala we Ruth Mukhama. Emikolo gy’abadde gyakubeerawo ku Lwokubiri nga May 16, 2023 olunaku lwennyini lwe baasazeewo okumuziika. Yafa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ku kkanisa ya Church of the Ressurection e Bugolobi, nnamwandu Ruth Mukhama yasabye abantu ssekinoomu kw’ossa ne Bannaddiini okutuukirizanga obuvunaanyizibwa bwabwe basobole okutuuka mu maaso ga Katonda nga beesimbu.

Ono yatenderezza omwami we olw’omukwano omungi gw’abadde alina eri abantu ne Katonda n’ategeeza nga kino bwe kibadde kyamufuula omuntu ow’enjawulo.

Ssabalabirizi eyawummula Starnley Ntagali (ku ddyo) n'abalala nga betabye mu kuwerekera omubiri gwa Mukhama.

Ssabalabirizi eyawummula Starnley Ntagali (ku ddyo) n'abalala nga betabye mu kuwerekera omubiri gwa Mukhama.

Akulira olukiiko lw’abalabirizi mu kkanisa ya Uganda Rt Rev. Joseph Abura nga ye yakiikiridde Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda,  Samuel Stephen Kazimba Mugalu yatenderezza Mukhama olw’obuvumu bw’abadde nabwo n’okwagala kwe eri Katonda.

Tags: