Amawulire

Omukristu byafuna mu kwebuulira ku kigambo kya Katonda

BULIJJO Eklezia etukubiriza okusoma n’okwebuulira ku kigambo kya Katonda mu maka gaffe wabula mu kiseera kino eky’ekisiibo ffenna tukubirizibwa okwetanira ennyo okusoma n’okwebuulira ku kigambo kya Katonda.

Faaza Nkeera ng’annyonnyola.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BULIJJO Eklezia etukubiriza okusoma n’okwebuulira ku kigambo kya Katonda mu maka gaffe wabula mu kiseera kino eky’ekisiibo ffenna tukubirizibwa okwetanira ennyo okusoma n’okwebuulira ku kigambo kya Katonda.
Ekigambo kya Katonda kisangibwa mu kitambo ky’Omukristu ne Bbayibuli era buli Mukristu akubirizibwa okubeera n’ebitabo bino ate n’okujjumbira okubisoma buli lunaku okusobola okwebuulirira ku kigambo ky’Omukama.
Faaza Joseph Mukasa Nkeera ow’ekigo kya Kaloori Lwanga e Gaba yategeezezza nti ekigambo kya Katonda y’ensulo y’okumanya, amazima n’essuubi.
Nga mu kino omuntu yenna ayagala okubaako ky’amanya alina okweyamba ebyawandiikibwa okuva mu Bayibuli n’ekitabo ky’Omukristu ebitufukirira ne tufuna obulamu obuggya nga kino tuyinza okukigeraageranya ku budde bw’ekyeya bwetubaddemu ng’enkuba bwe yatonnye buli kitonde kyafunye okudda obuggya.
Agamba nti mu budde buno Abakristu bonna bayitibwa okujjumbira okusoma n’okwebuulira ku byawandiikibwa ng’abantu ssekinnoomu oba mu nkola ey’okukung’ana mu bubondo bwabwe.
Fr. Nkeera agamba nti ekitabo kya Yisaaya 55:10-11, kyogera bulungi ku bukulu bw’ekigambo kya Katonda nga bwekityo buli muntu akyetaaga naddala mu budde buno obw’okudda eri Omukama.
Ekigambo kya Katonda kituwa enteekateeka ya Katonda mu bujjuvu eri obulamu bwaffe era buli muntu yandibadde akyeyamba okusobola okuvvuunuka embeera yonna gyayitamu.
Ekigambo kya Katonda kituyamba okuddamu essuubi n’okubeera abaguminkiriza era klezia ng’eriwamu n’ekibiina ekivunaanyizibwa okubunyisa n’okukyusa ebyawandiikibwa mu nnimi ennansi ekya Uganda Bible Society bakola buli kisoboka okubunyisa n’okusaasaanya ekigambo kya Katonda olw’obukulu bwakyo.
Yadde mu budde buno tukubirizibwa okweyunira okusoma ekigambo kya Katonda kino tekikoma mu budde buno obw’ekisiibo, kisaanye kitulambike obulamu bwaffe bwonna.
Omutuukirivu Jerome atujjukiza

Tags: