Amawulire

Omukunyu ddagala ku mutima ate kigimusa

OMUKUNYU muti gwa njawulo, guvaako eddagala, emmere ate n’ekigimusa. Mu Luzungu guyitibwa ‘Fig tree’, ate mu ssaayansi ye ‘Ficus carica’. Omukunyu gutandika okukujjanjaba nga waakatuuka mu kifo weguli. Bw’ossa empewo evudde ku muti guno etandikirawo okukujjanjaba naddala endwadde ezikwatagana n’okussa.

Joanitah Nassimbwa ng’alaga amasanda g’omukunyu agakaza ebiwundu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUKUNYU muti gwa njawulo, guvaako eddagala, emmere ate n’ekigimusa. Mu Luzungu guyitibwa ‘Fig tree’, ate mu ssaayansi ye ‘Ficus carica’. Omukunyu gutandika okukujjanjaba nga waakatuuka mu kifo weguli. Bw’ossa empewo evudde ku muti guno etandikirawo okukujjanjaba naddala endwadde ezikwatagana n’okussa.

Omukunyu gusobola okukulira mu buli kitundu eky’ensi omuli eddungu ate n’ebyo ebitonnyamu enkuba. Guno gubala ebibala nga bwe biba bibisi biba bya kiragala ate bwe byengera ne bimyukirira. Bw’oyasa ebibala bino, munda biba bimyufumyufu okufaananako amapeera amamyufu  munda.
ENDWADDE OMUKUNYU GWE ZIVUMULA
Nathan Mark Ssenyondo, anoonyereza ku ddagala ly’obutonde okuva mu kitongole
kya WILIPF Uganda agamba nti: Omukunyu muti gwa byewuunyo naddala bwe kituuka ku kuvumula endwadde ez’enjawulo, era kirungi buli Munnayuganda n’aba nagwo awaka.
Ezimu ku ndwadde omukunyu gwe ziwonya kuliko: 1 Okuwonya endwadde z’omutima: Singa omutima guba gukuluma, nga gukutyekeera wamu n’entunnunsi okukuba ennyo, weekwate ebibala by’omukunyu ojja kuwona.
Bino obiwanula n’obisalaasala n’olya ng’alya ebibala ebirala. Bw’obinyiikirira, omutima gutereera. 2 Okusala Omugejjo: Abantu abamu ensangi zino babonaabona n’omugejjo ne banoonya engeri y’okugusala n’ebula, bw’olya ebibala by’omukunyu omugejjo oguwona.
Akakodyo mu kusala omugejjo kali nti, bw’olya ebibala by’omukunyu okkuta olw’amazzi ge birina n’otojulira kulya mmere. Mu mbeera eno bw’otolya nnyo mmere oba osobola okusala omugejjo. 3 Okulongoosa olususu: Nga bwe twalabye mu Bayibuli ng’eyali alwadde endwadde enkambwe ku lususu yalagirwa awaali ekirwadde asiigewo
ebibala by’omukunyu era n’awona, naawe olususu gwe lubonyabonya, kunya ebibala by’omukunyu weesiige ku lususu ng’eyeesiiga ebizigo ojja kuwona. 4 Okuwonya endwadde z’omu lubuto:
Ggwe akaluubirirwang’ogenze emmanju, weekwate ebibala by’omukunyu ekizibu
ekyo tojja Amasanda g’omukunyu tegalaba ku bbwa   Singa omenya ekikoola
ky’omukunyu ojja kulaba nga kivaamu amasanda. Amasanda ago ddagala eri omuntu
eyaakafuna ebbwa. Gafune ogateeke ku bbwa, gajja kuziyiza obuwuka obwalirigenzeeko ate n’okuwona amangu.
l Okugogola emisuwa: Singa onywa ‘amajaani’ agakoleddwa mu bikoola by’omukunyu, gajja kukugogola emisuwa omusaayi gusobole okutambula obulungi mu mubiri. Gateeke ku mazzi agabuguma, onywe ojja kuwulira ng’oteredde.
l Guwonya endwadde ezikwatagana n’okussa: Ggwe alina ekizibu mu kussa n’amawuggwe, weekwate amajaani g’omukunyu oba omubisi gw’ebibala byagwo.
l Guwonya obulumi abakyala bwe bafuna nga bagenze mu nsonga: Omukyala alumizibwa, funa ebibajjo by’omukunyu obyanike mu kisiikirize n’oluvannyuma obikolemu ensaano oteekenga ku caayi ojja kutereera.
l Alumizibwa amagumba oba ennyingo nywa kaawa w’omukunyu: Funa ensaano eva mu bibajjo by’omukunyu era ng’oginywa ku caayi n’amajaani ejja kukuvumula
kuddamu kukifuna  Emigaso gy’omukunyu emirala   Nathan Mark Ssenyondo,
annyonnyola nti: l Omukunyu guyambako mu kutereeza empewo, era omukka gw’ossa nga oguliraanye guba guwewuka.
l Okuyambako mu kusika amazzi mu ttaka: Omukunyu gulina emirandira egikkira ddala wansi mu ttaka egiwerako, gino gikuhhaanya amazzi ne gigaleeta waggulu era omulandira ne bw’ogutemako n’olembeka amazzi ogafuna. Omukunyu era we guli wasobola okwanguwa okusimawo nayikonto kubanga gusobola okufuna amazzi
amalungi.
l Okukolamu ebinu: Olw’okuba omukunyu tegulina wadde ettondo ly’obulabe, gwe muti omutuufu ogukolebwamu ebinu ebisekula emmere gamba nga, muwogo ow’obuwunga, obulo oba ebinyeebwa. Ne bwe wabaawo obupapajjo bw’omukunyu
bw’oliira mu mmere, tobaako buzibu bw’ofuna okuggyako ate okukujjanjaba endwadde oluusi ne z’otomanyi.
l Wayini akolebwa mu mukunyu agogola emisuwa: Ebibala by’omukunyu era bisobola okukamulwamu wayini ayamba mu kugogola emisuwa. Wabula ono nywaako wa kigero ate nga osoose kulya ku mmer  Omukunyu gutangira ebiwuka okulya ebirime   James Kabanda, omutuuze ku kyalo Butebi mu disitulikiti y’e Mityana era nga mulimi wa mikunyu agamba nti:
Abantu abalima mu nnima ey’obutonde omukunyu gubayamba mu kutangira ebiwuka okulya ebirime byabwe.
Olw’okuba omukumyu gusika eminnyo mingi okuva mu ttaka, bwe guba mu kitundu buli kiwuka kiba kyagala okulya ebikoola byagwo era byonna bisibira ku mukunyu olwo ebirime ebiri mu nnimiro ne bisobola okukula obulungi. Mu biseera eby’ekyeya, ebirime bye wasimba okuliraana omukunyu oba okumpi n’omukunyu tebikosebwa kuba bisigala binywa amazzi omukunyu ge gusika. Awo, omukunyu gulina eddagala lingi ery’abantu n’ebiwuka ate nga gugimusa ettaka.

GUSIMBE MMITA 30 OKUVA KU NJU
Mark Ssenyondo agamba nti: Ebibala by’omukunyu singa byengera, bigwa ne bivaamu akawoowo akayinza okukosa oyo atawaanyizibwa alaje y’obuwoowo. Singa obeera n’omuntu alumbibwa ebirogologo, bwe gubeera mu mmita 30 okuva ku nju takosebwa

Tags: