Amawulire

OMUKUNGU wa gavumenti avudde ku ddaala n'agwa n'afa

OMUKUNGU wa gavumenti avudde ku ddaala n'agwa n'afa 

OMUKUNGU wa gavumenti avudde ku ddaala n'agwa n'afa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision
OMUKUNGU wa gavumenti avudde ku ddaala n'agwa nafa mu maka ge.
Dr. Andrew Kiggundu omukugu mu by’okunoonyereza ku tekinologiya w’ebirime mu kitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa okunoonyereza ku bireme ekya National Agricultural Research Organisation (NARO), yafiiridde mu maka g’e Kalmabi- Buloba mu disitulikiti ye Wakiso ku Lwokubiri.
 
Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Kalambi-Kiwumu omugenzi Elias Sebugenyi gy’abadde abeera ategeezezza nti omugenzi abadde alina emikolo gy’ateekateeka mu maka ge ku Lwokutaano lwa wiiki eno ng’era yabadde agezaako okutereeza entambula y’amazzi mu emu ku ttanka ezawagula naserera nagwa wansi nafiirawo.
 
Kigambibwa abaabaddewo bafubye okuyita abasawo mu bwango kyokka bagenze okutuuka ng’amaze okufa.
 
Akulira ekitongole kya NARO mu ggwanga Dr.Yonna Baguma leero afulumizza ekiwandikoi ekikungubagira Dr.Kiggundu gwa yayogedde ng’abadde ng’abadde omusajja omugezi,omuyiya,ategulumizza era akoledde ennyo eggwanga lye ng’ayita mukunoonyereza okwekikugu n’okusomesa abalala ku by’ebirime n’esigo.
EBYAFAAYO BYE
Dr.Kiggundu yeegatta ku kitongole kya NARO,mu1993, ng’omumyuka wavunaanyizibwa ku kunoonyereza ku bitooke gye yava okwegatta ku Protoria University e South Africa gye yafunira diguli ey’okusatu nga tannalondebwa kukulira kitongole ekivunaanyizibwa okunoonyereza ku birime n’ensigo ez’omulembe ekya National Agricultural Biotechnology Centre e Kawanda.
 
Ajjukirwa nnyo olw’okubeera omusale mukuvumbula tekinologiya eyeyambisa mukutangira edwadde z’ebirimu n’ensigo ezigumira embeera y’obudde n’endwadde ng’aweereza mu bifo n’ebitongole ebyenjawulo bingi mu ggwanga n’ebweru walyo.
 
ETEEKATEEKA Z’OKUMUKUNGUBAGIRA N’OKUMUZIIKA
Ekya ku Lwokuna omugenzi wakusabira ku kigo kya ST.Balikuddembe Buloba  ssaawa 9:30 ez’okumakya oluvannyuma  oluvannyuma omubiri gwe gwakutwalibwa mu maka g’e Buloba awagenda okukumibwa olumbe.
Omugenzi wakuziikibwa ku Lwokutaano mu maka g’e Kalambi -Buloba
Tags: