Amawulire

Agambibwa okubba waya z'amasannyalaze Poliisi ebakutte buli omu n'alumiriza munne

POLIISI ekutte abagambibwa okubeera ababbi ba waya z'amasannyalaze buli omu n'atandika okulumiriza munne 

Omwogezi wa poliisi e masaka Twaha Kasirye nga aliiko by'abuuza abakwate,ku kkono ye Ssaalongo Ssenkungu ne Mugulusi ku mpingu
By: Phiona Nanyomo, Journalists @New Vision

POLIISI ekutte abagambibwa okubeera ababbi ba waya z'amasannyalaze buli omu n'atandika okulumiriza munne 

Abakwate kuliko Ssaalongo Abdul Ssenkungu 30 ne Isaac Mugulusi 24 nga bano bonna batuuze ku kyalo Bulayi-Seeta mu divizoni ya Nyendo Mukungwe mu kibuga Masaka.

Bano okukwatibwa kiddiridde abantu okuwalampa emiti gy'amasanyalaze ku kyalo kino ne basala waya zonna.

Kyokka waya zino zisangiddwa mu nju ya Mugulusi nga zipakiddwa mu kakutiya.

Waya z'amasanyalaze ezisangiddwa mu nju ya Mugulusi

Waya z'amasanyalaze ezisangiddwa mu nju ya Mugulusi

 Kyokka Ono olukwatiddwa naalonkoma munywanyiwe Ssaalongo Ssenkungu nga bwebabadde mu ddiiru bombi okukakana nga naye akwatiddwa.

Kyokka bano berumirizza mu maaso ga poliisi nga buli omu alumirizza munne okubeera emabega wa ddiiru eno.

Omwogezi wa poliisi mu bbendobendo lye masaka Twaha Kasirye akakasizza okukwatibwa kwa bano n'ategeeza nga bwebaguddwako emisango egyenjawulo era nga obudde bwonna bakutwalibwa mu mbuga z'amateeka bavunanibwe.

Tags: