Amawulire

Christopher Okello Onyuma ategeezezza kkooti nti ayagala nnyo okukola ssaddaaka era kyekyamuviirako okutemula abaana ku ssomero e Ggaba

Christopher Okello Onyum, 39, agamba nti, akkiririza mu buggagga obw'okusadaaka era nga kino kye kyamutanula n'akkira amabujje n'agasanjagga ebiso, ku ssomero lya Ggaba Early Childhood Development Centre,  ku Lwokuna, nga April, 02,2026. 

Okello ng'ali mu kkooti
By: Stuart Yiga, Journalists @New Vision

Christopher Okello Onyum, 39, agamba nti, akkiririza mu buggagga obw'okusadaaka era nga kino kye kyamutanula n'akkira amabujje n'agasanjagga ebiso, ku ssomero lya Ggaba Early Childhood Development Centre,  ku Lwokuna, nga April, 02,2026.

Bw'abadde alabiseeko mu kkooti olwaleero (Lwakusatu, April,  08, 2026), akulira kkooti ento e Makindye,  Sarah Basemera, azzeemu n'amusomera emisango wamu n'obujulizi obugenda okwesigamwako bw'anaaba atandise okuwozesebwa mu butongole mu kkooti enkulu.
Kyaddiridde oludda oluwaabi olukulembeddwaamu Jonathan Muwaganya, ne Anna Kiiza, ku Lw'omuwaabi wa gavumenti, Lino Anguzu okutegeeza nti okunoonyereza mu musango guno omuli n'okukungaanya obujulizi bwonna obwetaagisa, byabadde biwedde.
Omulamuzi wano w'asinzidde n'asindika-Onyum, ku alimanda mu kkomera e Luzira, gy'anaava atwalibwe mu kkooti enkulu ku lunaku olunaamutegeezebwa yennyonnyoleko ku by'okutta; Gideon Eteku, Ryan Odeke, Ignatius Sseruyange, ne Keisha Agenrwoth

Tags: