ABA kkampuni ya MM Intergrated Steel mills Uganda Ltd, abakola amabaati ga kiboko n’ebizimbisibwa ebirala beegasse ku makkampuni amalala n’abantu ssekinoomu okuwagira emisinde gya mazaalibwa ga Kabaka nga bagulira abakozi baabwe ne bakasitoma emijoozi.
Bano nga bakulembeddwamu akulira ba kitunzi mu Buganda Elizabeth Namara bazze ku kitebe kya Vision Group efulumya n’olupapula lwa Bukedde ne bagula emijoozi gya 1,250,000 nga gibakwasiddwa Dorah Naamala owa Bukedde.

Aba Kibooko nga bakwasibwa emijoozi
Namara akunze bannayuganda okujjumbira okugula emijoozi gino okusobola okuddukirira omulanga gwa Kabaka ogw’okulwanyisa mukenenya.
Emisinde gyakubeerawo ku Ssande (Apirl 12 nga gyakusimbulwa mu Lubiri emmengo.