Amawulire

Polisii ekutte abantu 2 abagambibwa okuwamba omwana ow'emyaka 4

ABANTU babiri abagambibwa okuwamba omwana ow'emyaka 4 n'ekigendererwa ekitannamanyika, bakwatiddwa poliisi e Pallisa.

Polisii ekutte abantu 2 abagambibwa okuwamba omwana ow'emyaka 4
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU babiri abagambibwa okuwamba omwana ow'emyaka 4 n'ekigendererwa ekitannamanyika, bakwatiddwa poliisi e Palisa.

 

Omwana ono omulenzi , George Mugoda 4,  nga mutabani wa Hebert Kirya omukozi ku disitulikiti e Palisa ,  yawambiddwa nga December 9.

 

Byabadde ku kyalo Kalalaka B Cell mu West Ward mu kibuga Pallisa , abantu bano,  bwe bawambye omwana nga muyizi mu ssomero lya Redeemer Nursery and P/S .

 

Omwogezi wa poliisi e Bukedi, Wilfred Kyepasa , agambye nti omwana bamusanze Iganga era ne bakwata abantu babiri, ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

 

Akubirizza abazadde, okwongera okukuuma abaana naddala mu kiseera kino eky'oluwummula oluwanvu, omuli ebikujjuko by'ennaku enkulu ne kkampeyini z'abeesimbyewo mu by'obufuzi.

Tags:
Amawulire
Pallisa
George Mugoda