Amawulire

SUPREME Mufti wa Uganda, Sheikh Muhammad Galabuzi akuutidde abantu bulijjo okujjumbira okuwa Zakah

SUPREME Mufti wa Uganda, Sheikh Muhammad Galabuzi akuutidde abantu bulijjo okujjumbira okuwa Zakah era n’asaba n’abo abagifuna okugiteeka mu bintu eby’enkulakulana esobole okubagasa.

Supreme Mufti Galabuzi (mu nkofiira enjeru) nga akwsa Aisha Nannozi ekyalaani.
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

SUPREME Mufti wa Uganda, Sheikh Muhammad Galabuzi akuutidde abantu bulijjo okujjumbira okuwa Zakah era n’asaba n’abo abagifuna okugiteeka mu bintu eby’enkulakulana esobole okubagasa.
Bino Galabuzi abyogedde bw’abadde akulembeddemu omukolo gw’okugaba Zakah ku muzikiti gwa Masjid Raashid e Bwaise n’ategeeza nti basanga okusomoozebwa okw’abantu abaddukira gyebali nga baagala obuyambi kyokka oluba okubufuna ate nebadda mu kwejalabya olwo obuyambi nebutabagasa.
Ategezezza nti omulimu gw’okuwaayo gwalaliikibwa ku mpagi eziyimirizawo Obusiraamu era nga buli alina obusobozi asana atuukirize empagi eno.
Kyokka akyukidde abamu ku bakulembeze ababulankanya ensimbi za Zakah nti balina okukikomya kubanga kisiiga ekifaananyi ekibi eri obuweereza bwabwe n’asiima nnyo akakiiko k’omuzikiti guno olw’okubeera abeerufu.

Supreme Mufti Galabuzi nga ayogera ku mukolo

Supreme Mufti Galabuzi nga ayogera ku mukolo


Bw’abadde akwasa abantu ab’enjawulo Zakah ebalirirwamu obukadde 60, Galabuzi asabye abantu nga bwebajumbidde ennyo okukola Hijja n’empagi eno bwebalina okujijjumbira kubanga byonna eyabiragira y’omu Katonda.
Kyokka akuutidde n’abaami okwongera okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu maka nga tebabulekera bakyala kubanga kino kyeyolekera ku muwendo gw’abakyala abasaba Zakah okweyongera ennyo nga kino kiraga nti abaami obuvunaanyizibwa bwabwe tebakyabukola bulungi eri bakayala baabwe.
Akulira Ddaawa mu Uganda era nga y’omu ku bakulembeddemu entekateeka eno, Sheikh Yasin Kiweewa asabye abantu okulabira ku bannabwe abawaayo nabo bakole kyekimu okusobola okukyusa embeera zaabo abali mu bwetaavu.
Abantu ab’enjawulo bawereddwa ebintu eby’enjawulo okuli ebyalaani, pikipiki ne sente enkalu n’ekigendererwa eky’okubawa entandikwa babeeko ne byebakola.
Twahiri Galabuzi nga yawereddwa pikipiki asiimye nnyo entekateeka eno era n’asuubiza okukola kyonna ekisoboka Zakah eno emugase.
Tags: