OMUKULEMBEZE we kibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Sentamu ayaniriziddwa mu mizira mu kibuga kye Ntebe era nga ono abawagizi be Kibiina kya NUP mu kibuga kye Ntebe ssaako n'anakulembeze ba NUP bebamwanirizza.
Bobi abadde tannatuuka eby'okwerinda bisoose kunywezebwa ku makubo okulaba ng'atuuka mu mirembe n'okuva obulungi mu kibuga kye Ntebe.
Hon Namuli Joyce Nabatta aloopedde Kyagulanyi nti ennyumba z'ebitongole bya gavumenti byatundibwa , ebitongole bya gavumenti byona byatwalibwa Kampala kyagambye nti si kituufu n'amusaba nti singa awangula akomyewo ebitongole bino kwosa n'okununula enyumba zino .

Abawagizi ba Bobi Wine nga beerula ekkubo
Robert Kyagulanyi Sentamu ategeezezza nti musanyufu nnyo olw'okwanirizibwa e Ntebe wadde tekibadde kyangu naye n'asaba abalonzi okulonda Ambulara buli webagiraba kubanga yegenda okubanunula okuva mumbeera embi .
Kyagulanyi ategezezeeza abawagizi nti balina okukuuma akalulu nga bamaze okulonda ate nabakuutira obutakola fujjo kukuba bantu oba ekikolwa kyona ekikyamu wabula balonde kalulu