Amawulire

Omukozi mu ofiisi ya RDC gwe baasanze afiiridde mu buliri aziikiddwa!

OMUKOZI mu ofiisi ya RDC e Kawempe bamusanze afiiridde mu buliri n’aleka abaffamire n’emikwano mu bibuuzo.

Omukozi mu ofiisi ya RDC gwe baasanze afiiridde mu buliri aziikiddwa!
By: Moses Lemisa, Journalist @New Vision

OMUKOZI mu ofiisi ya RDC e Kawempe bamusanze afiiridde mu buliri n’aleka abaffamire n’emikwano mu bibuuzo.

Rodgers Bwanika Bbaale 70, ye yayasangiddwa mu buliri ng’afudde , Bwanika amaze emyaka 30 ng’akola ogw’obukuumi ku ofiisi ya RDC e Kawempe nga ku Lwokubiri yali ku mulimu ku Lwokusatu bakozi banne we baafunidde amawulire g’okufa kwe.

Jennifer Nassimbwa Omumyuka Wa RDC e Kawempe  N'abamu Ku Bakozi Mu Ofiisi Ya Rdc Nga Boogerako Eri Abakungubazi E Masaka Omugenzi Gye Yazikiddwa (1)

Jennifer Nassimbwa Omumyuka Wa RDC e Kawempe N'abamu Ku Bakozi Mu Ofiisi Ya Rdc Nga Boogerako Eri Abakungubazi E Masaka Omugenzi Gye Yazikiddwa (1)

Jennifer Nassimbwa omumyuka wa RDC e Kawempe yagambye nti Bwanika abadde mukozi ayagala omulimu ng’abaddewo ku mirembe gy’aba RDC ab’enjawulo okuli Yahaya Kakooza  , Ssekabanja Edward , Fred  Bamwine  ,  omugenzi Alice Kagwa omugenzi Deborah Nabukenya  , Dauda Kato  , Hussein Hudu , Walugembe Juuko , Yasin Ndiide , Nalubega Mariam , Njuuki Mbabaali ne Kangenyi Luuka aliko kati .

Bwanika yaziikiddwa  ku kyalo Nabulago mu muluka gw’e Kimanya mu ggombolola y’e Kabonera  mu disitulikiti y’e Masaka 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
RDC
Ofiisi
Kufa
Buliri
Kuziikibwa