Amawulire

Munnamawulire asindikiddwa e Luzira ku by'okuwandiika ebikyamu ku minisita!

MUNNAMAWULIRE agambibwa okuwandiika ebikyamu ku minisita Babalanda asuze Luzira.

Munnamawulire asindikiddwa e Luzira ku by'okuwandiika ebikyamu ku minisita!
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

Remmy Asiteza 32, omutuuze w’e Ntinda mu diviizoni y’e Nakawa mu disitulikiti y’e Kampala ye yasindikiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ritah Neumbe Kidasa eyamusoedde emisango ebiri egy’okusaasaanya obubaka obukyamu n’agyegaana.

 

Asiteza kigambibwa nti nga July 7 ne 8 mu Kampala ng’ayita ku mukutu gwe oguyitibwa Daily Express.co.ug yasaasaanya amawulire ng’omukulembeze w’eggwanga Pulezidenti Museveni alagira ISO banoonyereze ku buwumbi abwabbibwa mu nteekateeka okuwandiisa abayambi ba ba RDC.

 

Teyakoma okwo n’ategeeza nga minisita Milly Babalanda bwe yali omulyake era yali mu mivuyo gino egiwandiika abayambi ba RDC ekitaali kituufu.

 

Omusango omulala kigambibwa nti ono yakuba ekyapa amawulire amakyamu ekikontana n’amateeka agalungamizibwa ekitongole ky’ebyempuliziganya nga talina biwandiiko bimukakasa kukikola.

 

Bino byonna yabyegaanye wabula n'asaba kkooti ekkirize okugenda mu maaso nga bannamateeka be weebali kuba baawubisiddwa nti omusango gwakutandika ssawa 8:00 kyokka nga kati tebaliwo.

 

Omulamuzi yamutegezeezza nga kkooti bw’etasobola kugumiikiriza kutuusa bannamateeka w ebatuukira kuba baagenze dda mu maaso.

 

Omuwaabi wa gavumenti mu musango guno, Joan Keko yategeezezza nga okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso n'asaba kkooti okubawaayo obudde okwongera okukola okunoonyereza kwabwe.

 

Omusango gwayongezeddwayo okutuusa nga September 9 okumanya okunoonyereza we kunaabera kutuuse.

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Luzira
Bikyamu
Munnamawulire
Kuwandiika