Amawulire

Nnamwandu alaajanidde RDC okumutaasa ku mutabani we alemedde ku kibanja!

Waliwo omukadde ow'emyaka 82 awanjagidde ofiisi y'omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Luweero ne bannamateeka okumutaasa ku mwana we gwe yeezaalira ayitibwa Kakooza Fred gw’alumiriza okumukijjanya ku kibanja bbaawe omugenzi Philip Mukyakaze kye yamulekera.

Nnamwandu alaajanidde RDC okumutaasa ku mutabani we alemedde ku kibanja!
By: Wasswa Ssentongo, Journalist @New Vision

Waliwo omukadde ow'emyaka 82 awanjagidde ofiisi y'omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Luweero ne bannamateeka okumutaasa ku mwana we gwe yeezaalira ayitibwa Kakooza Fred gw’alumiriza okumukijjanya ku kibanja bbaawe omugenzi Philip Mukyakaze kye yamulekera.

Betty Nakate, omutuuze ku kyalo Mawu- Nsanvu -Namayamba mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y’e Luweero agambye nti bba Mukyakaze okuva bwe yafa mutabani we asusse okumutulugunya nga n’ekibanja kye tamukkirizza kugendayo.

Nakate eyalaajanidde RDC

Nakate eyalaajanidde RDC

Ono agambye nti mu kaseera kano muzzukulu we y’amulabirira kyokka we yandibadde alina emmere ate yamugobyewo nga n’ekifo w’abadde alundira ente ze omuddo bagufuuyidde.

Wano we yasinzidde n’asaba RDC w’e Luwero okulaba ng’ayingira mu nsonga ze kuba kati asobeddwa eky'okukola.

Bo abatuuze ku kyalo kino nabo basabye be kikwato okuyamba omukadde ono kuba eky’amazima waliwo ebitatambula bulungi ku nsonga zino.

Wabula, baasobodde okufuna omusajja Kakooza Fred ku ssimu kyokka agambye nti omukadde yakkiriza ne bagabana kyokka mu kaseera kano ne yeefuula wakati nga muzzukulu we amulabirira era amuteekamu ebigambo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Ttaka
Mutabani
Kulemerako
Kibanja
RDC