Omukolo gw’okwaniriza Kadaga gugasse aba NRM n’ebibiina ebivuganya

EKIBUGA Jinja kyawuumye Minisita w’ensonga z’omukago gwa East Africa, Rebecca Alitwala Kadaga, bwe yabadde ayisa ebivvulu n’agamba nti wadde azze afuna ebinuubule mu kibiinan kya NRM, si waakukivaamu era waakuyiggira Pulezidenti Museveni n’abaafuna kkaadi akalulu.

Kadaga n’abawagizi be nga beefuze oluguudo lwa Nalufenya ng’ayingira ekibuga Jinja.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKIBUGA Jinja kyawuumye Minisita w’ensonga z’omukago gwa East Africa, Rebecca Alitwala Kadaga, bwe yabadde ayisa ebivvulu n’agamba nti wadde azze afuna ebinuubule mu kibiinan kya NRM, si waakukivaamu era waakuyiggira Pulezidenti Museveni n’abaafuna kkaadi akalulu.
Kadaga era nga ye mumuyuka wa Katikkiro asooka, yagambye nti ebyamutuukako mu kalulu ka CEC tebyamuyigudde ttama, era waakusigala ku mulamwa kuba NRM y’emuwadde obwagazi mu bantu.
“Sijja kuva mu NRM. Kye kibiina ekinfudde kyendi e Busoga,” Kadaga bwe yagambye.
Bino yabyogeredde mu Jinja City ne mu kibuga ky’e Kamuli, awaabadde enkuuka y’okumwaniriza ng’omuzira, abawagizi be gye baategese. Omukolo gwacamudde bangi,
omwabadde abawagizi ba NRM, aba NUP n’ebibiina ebirala bakira abasaakaanyiza awamu
nga beesaze emijoozi gya kyenvu, emimyufu n’obukoofi ira, egya bbulu ne langi z’ebyobufuzi endala.
Abawagizi baamulindidde ku lutindo lw’e Jinja okutuuka ku kibangirizi ky’ebyobulimi mu
kibuga Jinja, gye yayogeredde.
Okuva lwe yameggebwa mu kalulu ka CEC, abadde taddanga, abawagizi kwe kutegeka bamwanirize ne vayibu. Kyamutwalidde essaawa nga10 okuva ku lutindo e
Jinja okutuuka e Kamuli olw’abantu abaabadde bakwatiridde mu luguudo.
YALUMBYE ABABAKA BA BUSOGA NE KATIKKIROKadaaga yeekokkodde ababaka ba Busoga n’ebibinja ebimulwanyisa nti bakoze kinene okwawulayawula mu Busoga eviiremu awo mu by’enkulaakulana.
Yalumbye Katuukiro wa Busoga, Dr. Joseph Muvawala ntiy’akulembedde ababbi b’ettaka ly’Obusoga, era y’alemesezza Busoga okufuna “Ebyaiffe,”. “Pulezidenti Museveni yali akkirizza okutuddiza ebyaiffe, naye Katuukiro yayita emmanju n’amutegeeza nti tebyetaagisa, kuba yabitunda, essente n’azigabana ne baminisita be, okuli omumyuka we, Osman Noor,” Kadaga bwe yagambye.