Hadijah Namyalo asabye bannakibiina kya NRM okulabira ku muzibe eyawangudde ekifo ku CEC

AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo  asabye aba NRM okwetoloola Uganda okulabira ku muzibe eyawangudde ekifo kya baliko obulemu ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntiko [CEC] akakoddyo keyakozesezza mu kitundu kye okumatiza abatafunye kaadi okudda okwesimba ku baabawangula.

Hadijah Namyalo ng'ayogera
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo  asabye aba NRM okwetoloola Uganda okulabira ku muzibe eyawangudde ekifo kya baliko obulemu ku lukiiko lwa NRM olw’oku ntiko [CEC] akakoddyo keyakozesezza mu kitundu kye okumatiza abatafunye kaadi okudda okwesimba ku baabawangula.

Muzibe eyawangula ekifo ku CEC

Muzibe eyawangula ekifo ku CEC

Namyalo  yagambye nti  kugenda kubeera kuswala kwa maanyi nnyo,  nga gwe ssentebe wa NRM mu  disitulikiti yo ne bakulembeze bano bonna bwe mukulembeera NRM mu kitundu ekyo ng’ate mulina amaaso abbiri okulemwa okwogera ne banna kibiina abatasobola kuwangula kaadi okudda  okuvuganya ku bifo eby’enjawulo ekintu ekikendeza emikisa gy’obuwanguzi bwa abantu baffe mu bitundu gye muli.

“Mwanje oli musajja nnyo n’olukiiko lwo lw’okulembeera nalwo disitulikiti y’e Bukomansimbi mu kibiina kya NRM okubeera nga muntegezezza nti mwasobodde okwogera na buli muntu eyavuganya ku kaadi ya NRM  nagwa ku mitendera egy’enjawulo obutadda kuvuganya baabawangula mu kamyufune bakkiriza” Namyalo bweyategezezza.

 Bino Namyalo yabyogeredde ku mukolo gw’okwebaza Allah okusobozesa Mwanje okuwangula  ekifo kya CEC, okukikkirira abaliiko obulemu mu ggwanga lyonna ku lukiiko lwa NRM olw’okuntiiko, ogwa tegekeddwa banna -NRM e Bukomansimbi ku kisaawe kya Bulenge mu ggombolola y’e  Bigasa - Bukomansimbi ku Ssande.

Abantu abakung'aanye okwefunir ku bintu bya NRM

Abantu abakung'aanye okwefunir ku bintu bya NRM

Namyalo yasabye ab’e Bukomansimbi bonna okulonda banna- NRM abagikwatidde bendera ku   mitendera egy’enjawulo  okuli Ruth Katushabe avuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa Bukomansimbi, Salim Kisekka (Bukomansimbi North) Julius Bulegeya kya ssentebe wa disitulikiti y’e Bukomansimbin’abalala.

  Shafic Mwanje yatendereza Namyalo  okubeera n’omutima ogw’obukulembeze era omukyala omuzadde ku myaka emito gy’aliiko.

                “Namyalo yajja e Bukomansimbi mu 2023 ku mukolo gw’okujja abantu mu bwavu bweyawulira byenjogera nandabamu omugaaso era teyampisamu maaso ng’abantu abalala bwe bayisa muffe abaliiko obulemu amaaso wadde obeera wasoma nga nze” Mwanje bweyategezezza.

                Yayongeddeko nti  amangu ddala yanfula dayirekita akulira okukunga mu offiisi ya ssentebe wa NRM mu  ggwanga lyonna naye nga nkituukako lwa Namyalo era katonda bwe yali amuyittiramu era gye nafunira ekirowoozo  okwesimba ku CEC.

Ebimu ku bintu ebigabiddwa Namyalo

Ebimu ku bintu ebigabiddwa Namyalo

                “Ebya Allah  bya ngeri nga siiti, Mwanje omuzibe wa maaso kitange gwe yegaana nagaana  n’okumpereera kyokka maama navungiza okulaba nga nsoma kati nze ali ku lusegere lwa Pulezidenti buli wenjagalira we mulabira. Omwana w’omunnaku okulya n’abalangira” Mwanje bweyategezezza.

 Namyalo ebirabo bye yabadde atwalidde Mwanje okuli esigiiri 200, bomba ezifuyiira ebirime 300, ebyalani 100, obuuma obukuba emberenge, emmwanyi ne kalonda omulala   byonna Mwanje yalagidde babiwe abatuuze be n’omulanga ogugamba nti ‘Buganda Tweyambe” okujja ekirabo ky’e nte , embuzzi ne nkoko eyamuwereddwa nasalawo agende agirunde ezaale eyongere ku kiralo kye. Ends