AMERICA eyongedde okutabukira abagwira n’efulumya olukalala lw’amawanga amalala 36 ag’okugaana bannansi baayo obutaddayo kulinnyayo nga ne Uganda mw’eri, okuggyako nga batuukirizza obukwakkulizo wammanga.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa minisitule y’ensonga z’ebweru ekulemberwa Marco Rubio, Gavumenti ya Pulezidenti Donald Trp eyeeyama mu kampeyini okugoba abagwira, yalaze bw’ekooye bannansi b’amawanga abagendayo ku mirimu gye baba
balaze ne basigalirayo ddala nga Viza zaabwe ziweddeko.
Amawulire ga ‘The Examiner’ gaalaze amawanga ga Afrika agawera 36 agasuubirwa
okukaligibwa bannansi baayo obutaddamu kulinnya mu Amerika oba okubakkiriza
okugendayo kyokka ng’emitendera egibakkiriza gyongedde okukaluba.
Ensonga eyavuddeko ku kino yasinze ku bantu abagendayo ne balemerayo kyokka
nga mu kusaba Viza, baalaga nti, bagenda kumalayo ebbanga ttono badde ewaabwe.
Ekiwandiiko kyanokoddeyo Uganda mu butongole nga ensi eyanguyira buli omu okuyingira nga bw’ayagadde. Ekyo kitegeeza nti, ensi eno eyinza n’okuyingiza abantu abatali batuufu kubanga tebekenneenyezebwa nnyo.
Okwo era eyogerwako nga emu ku nsi ezirina bannansi abasinga okulemera mu Amerika. Waliwo amawanga amalala ekiwandiiko era ge kyalaze nti, bannansi baago babadde basusse okujingirira ebiwandiiko okubuzaabuza ebitebe by’eggwanga eryo ebigaba Viza.
Ensonga endala mulimu amawanga agalabika ng’agatakoze kimala ku bya
kulwanyisa butujju.
Amerika yawadde amawanga 36 ennaku 60 okunogera eddagala ensonga ezimenyeddwa
waggulu, bwe galemwa gakaligibwe nnatti.
OLUKALALA LW’AMAWANGA
Angola, Benin, Burkina Faso, Cabo Verde, Cameroon, Cote d’Ivoire, Democratic Republic of Congo, Djibouti, Egypt, Ethiopia, Gabon, Gambia, Ghana, Liberia,
Malawi, Mauritania, Niger, Nigeria, Sao Tome and Principe, Senegal, South Sudan, Tanzania, Uganda, Zambia ne Zimbabwe.
Amawanga amalala agatali ga Afrika kuliko; Antigua ne Barbuda, Dominica, Saint Kitts ne Nevis, Saint Lucia, Bhutan, Cambodia, Kyrgyzstan, Syria, Tonga, Tuvalu, ne Vanuatu. Luno lukalala lwa mulundi gwakubiri ng’olwasooka luliko amawanga 12 ng’era agasinga ga Afrika n’ensi za Buwalabu naddala Trump z’alumiriza okwenyigira
mu by’obutujju.
Ku ezo kwe kuli ne Iran ettunka kati ne Yisirayiri eginenya okugezaako okuweesa bbomu za nyukiriya era kati bali mu kwekuba