Amawulire

Omukazi eyasalako omwana wa mulamu we obulago bamututte Butabika

POLIISI ekakasizza nga bw’etutte omukazi eyakkakkana ku mwana wa mulamu we n’amusalako obulago nga kigambibwa nti yali atabuse omutwe.

Omukazi eyasalako omwana wa mulamu we obulago bamututte Butabika
By: Wasswa Ssentongo, Journalists @New Vision

POLIISI ekakasizza nga bw’etutte omukazi eyakkakkana ku mwana wa mulamu we n’amusalako obulago nga kigambibwa nti yali atabuse omutwe.

Okusinziira ku atwala poliisi y’e Matugga, Kasim Kakembo, Moureen Namuleme 40, mu kaseera kano atwaliddwa mu ddwaaliro e Butabika okumukebera okulaba oba nga ddala alina ekikyamu ku mutwe ekyamuviirako okutemula Nakato Luyiga 5, eyali asoma Top class ku ssomero lya Genious Kindergatten School.

 

Ettemu lino lyaliwo ku ssabiiti emu emabega ku kyalo Kitungwa mu ggombolola y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana.

Namuleme okutta Nakato yasooka kumuyita bwe yali azannya ne banne era ekyaddako kwe kumuggalira mu nnyumba okukkakkana ng’amusazeeko obulago .

Ekyewuunyisa  bwe Yamala okumusala n’afuluma ebweru nga yenna avulubanye omusaayi nga bwe yeewaana nga bw’ayagala okutta n’abalala.

Kino kyavaako abatuuze b’e Kitungwa okumukwata ne bamusiba emiguwa n’oluvannyuma ne bamuddusa ku poliisi olw’abatuuze abaali baaaala okumutusaako obulabe okusinzira kwekyo kyeyali akoze.

Nakato eyattibwa yali mwana wa mulamu we Jackson Senabulya nga ye maama we Shamin Namuyanja yali yagenda ku ssomero gye yali asomesa n’asalawo bamuleke ewa taata we omuto Steven Sekiranda bba Namuleme eyamutta.

Kakembo yagambye nti okusinziira ku booluganda, Namuleme yaliko ekikyamu ku mutwe kyokka nga abatuuze bagamba nti tebamulabangako ng’agudde eddalu ekyabawalirza okusooka okwetegerezza ensonga zino ne tusooka okumutwala e Butabika asobole okukeberebwa omutwe era bagenda kusinziira ku bbaluwa y’eddwaliro ly’e Butabika nga gwo omusango gw’omutemu tayinza kuguwona.

 

Tags:
Amawulire
Butabika
Mulamu
Mukazi