LOODIMEEYA wa Kampala, omuloodi Erias Lukwago Ssaalongo, avuddeyo n’akkiriza ebyavudde mu kulonda mwe yawanguliddwa Yinginiya Ronald Balimwezo, n’alaga byazzaako ng’avudde mu ofiisi.
Abadde asisinkanye bannamawulire mu maka ge e Wakaliga eggulo ku lwomukaaga, n’ategeeza nti wadde okulonda kwabaddemu ebirumira, naye akkiriza okuwangulwa era n’ayozaayoza Yinginiya Ronald Balimwezo eyamuwangudde, n’amwagaliza obukulembeze obulungi.
Lukwago agambye nti oluvannyuma lw’okuwangulwa, kati amaanyi agenda kugateeka ku lutabaalo lw’okulwanirira obwenkanya nga bulijjo bw’abadde akola, kubanga kye kintu ky’asinga okwagala kubanga awatali bwenkanya tewaba ddembe na nkulaakulana.
Mu kunoonya obwenkanya, agamba atandikira ku musango gw’omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina kya NUP era omubaka wa Butambala eyawanguddwa Mukasa Kivumbi, gw’agambye nti, yeetaaga bannamateeka okumulwanirira afune obwenkanya ku misango egyamuteekeddwaako awatali ayamba.
Ebimu ku bye yetaaga mu kulwanirira obwenkanya, agamba ayagala alwane okulaba ng’obukulembeze bw’eggwanga lino bukyuka mu mateeka, era mu ngeri ennungamu eyeetabiddwaamu bannayuganda bonna, si kubeera kyabusika kya ffamire emu.
Yeebazizza bannakamapala omukwano gwe bamulaze ebbanga lyonna lye bamukwasizza ofiisi y’obwa loodimeeya ssaako obubaka bwa palamenti bwe yasookamu.
“Bannakampala banjagadde nyo ate era bakyanjagala, wadde nga basazeewo okunzigya mu ofiisi, naye osanga balina ensonga endala lwaki bakoze batyo naye nga nkimanyi munda mu mitima gyabwe bakyanjagala ate nga nange nkyabaagala nnyo” Lukwago bwe yagambye.
Yeenyumirizza mu bukulembeze bwe bw’agambye nti, bubadde bwa mazima na bwenkanya nti era ebitabo by’eggwanga bigenda kumuwandiikako ng’omukulembeze ayimiridde ku mazima, atalya nguzi, atekkiriranya, , omwesimbu, atalya mu lulime na luzise.