ABAKULEMBEZE okuva ku ludda oluvuganya gavumenti e Ntebe basabye abalonzi obutagaana kugenda kulonda enkya kubanga ddembe lyabwe ate nti wabagaana abantu abalala bakubalonde abantu bebatayagala ekintu ekikyamu.
Bano babadde mu kulungaana lwa bamawulire e Ntebe nga balaga obutali bumativu olw'emivuyo emingi egyetobese mu kulonda omwaka guno okuva ddala ku kalulu ko mu kulembeze w'egwanga kwosa ne bifo ebirala .
Richard Sekyonde okuva mu NUP ayesimbye ku kifo kya Mayor we Ntebe agambye nti omulundi guno tebagenda kukiriza bantu kulonda mulundi gusuka mu gumu kwosa n'okulangirira abantu abasembye kubanga kyakuviirako abantu okwekyawa .

Abamu kubetabye mulukungana lwa bamawulire e Ntebe
Ono agambye nti bakukwatagana nga abakulembeze okulondoola akalulu kano okutuusa nga kawedde naye ne basaba abantu okugenda balonde olwo ebisigadde ebyokulondoola babirekere abakulembeze .
John Mugabi agambye nti kikyamu nnyo okuba nga akalulu omwaka guno tekatambudde bulungi kubanga abamu kubalangiriddwa tebalina webawangudde naye nga kati bebagenda okukulembela abantu be Ntebe lwampaka .
Ano avumiridde ekikolwa kyokulemesa abamawulire okukola omulimu gwabwe nga babagana okugenda mubifo ebimu kyagambye nti kikolwa kikyamu nnyo ekirina okukoma