Omujulizi owookutaano mu gw’okulebula Pr. Kayanja alumirizza omu ku bawawaabirwa okweyita ow’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu n’amukaka okukebererebwa mu ddwaliro oba ddala Kayanja yabakolako ebikolwa by’ekikukujju.
Simon Tumukunde, yaleeteddwa oludda oluwaabi n’alumiriza Agrey Kanene eyamukubiranga amasimu ag’okumukumu ng’amulagira okujja okukola sitaatimenti ku Poliisi e Kawempe n’okumukebera mu ddwaliro.
Abawawaabirwa Mu Kaguli Ka Kkooti, Alex Wakamala Ng'asoma Ekitabo Ekitukuvu.
Okogera bino, abadde mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo mu maaso g’omulamuzi Adams Byarugaba n’akinogaanya nti omu ku banne Reagan Ssentongo yabasendasenda ne balumba ekkanisa ya Miracle Centre mbu okubanja Ssente ze yayise ze baabakolerako eby’ekikukujju.
Yategeezezza kkooti nti yalaba guli gutyo ate nga n’ebikolwa tabirabangako n’asalawo okuva mu kikoosi kino n’adda awaka. Yagambye nti waayitawo ennaku mbale n’afuna essimu okuva ewa Kanene n’amusaba okusisinkana e Kawempe.
Yannyonnyodde nti eno gye yasingaanira Israel Wasswa ne Jamir Mwada abaayongera okumusendasenda nti bakole ffayiro nnyingi ezinaasobola okumegga Kayanja kubanga muntu wa maanyi.
Tumukunde Mu Kaguli Ka Kkooti Ng'awa Obujulizi.
Tumukunde agamba nti baasooka kumubuuza nti oba Pr. Kayanja yali amukozeeko eby’ekikukujju n’abagamba nti nedda era wano we baafunira ekirowoozo ky’okumutwala mu ddwaliro lya Nsambya Barrack okumukebera wabula ebyavaamu byali tebikakasa bikolwa ebyo.
Yagambye nti oluvannyuma lw’ebyavaamu nga tebiraga, ye ne banne badda wabweru w’eddwaliro ne batandika okwegeyaamu ku bintu bye baabateekamu ate nga tebigguka era ekyavaamu lwali luyombo n’akwata essimu ye n’abakwata amaloboozi oluvannyuma ge yatwala ku Miracle Central n’abategeeza ebyali bigenda mu maaso.
Mu kwogera, yategeezezza kkooti nti yabuuza Henry Lyazi ekigenda mu maaso n’amutegeeza nti bateekwa okuggusa omulimu guno kubanga Pr. Jackson Ssennyonga yabasuubiza 20,000 mu za ddoola, era ye kwe kubuuza lwaki tebaamuyita mu kuluka ddiiru eno kyokka ne babimuyingizaamu ng’obudde buyise.
Tumukunde era yagambye nti ng’amaze okutwalira Pr. Kayanja akatambi ka maloboozi ge yakwata banne, yayitibwa ku Poliisi n’akola sitaatimenti n’abawa n’akatambi ako era yasobodde okutegeera abantu abaakalimu bwe kaazannyiddwa mu kkooti.
Ng’ono tannawa bujulizi, waasoosewo omujulizi omulala Annet Nayiga eyataputa amaloboozi mu katambi ako okugazza mu Lungereza wabula kkooti yamutangidde okumukwata akatambi konna wadde okwoleka obwenyi bwe.
Omusango gwayongezeddwayo okutuuka nga December 11, 2023 bapuliida ba bawawaabirwa lwe banaabuuza omujulizi Tumukunde.
Israel Wasswa, eyali akulira abakuumi ba Paasita Jackson Ssennyonga, Peter Sserugo, Reagan Ssentongo, Moses Ssemanobe 27, Labeeb Khalifah 22, Alex Wakamala 22, Martins Kagolo 22, Jamir Mwanda ne Aggrey Kanene be baavunaanibwa emisango gino ekigambibwa nti baagizza nga September 17, 2023.