Balooya b'abawawaabirwa mu gw'okulebula Pr Kayanja boolekedde okusimbibwa mu kaguli

BALOOYA b’abawawaabirwa mu gw’okulebula Paasita Robert Kayanja owa Miracle Centre e Lubaga boolekedde okusimbibwa mu mbuga z’amateeka n’okuweebwa ekibonerezo ekikakali singa ogw’okulimba kkooti gubakka mu vvi!

Looya Hamphrey Tumwesigye ng'aliko by'annyonnyola.
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision

BALOOYA b’abawawaabirwa mu gw’okulebula Paasita Robert Kayanja owa Miracle Centre e Lubaga boolekedde okusimbibwa mu mbuga z’amateeka n’okuweebwa ekibonerezo ekikakali singa ogw’okulimba kkooti gubakka mu vvi!

Kino kyaddiridde omu ku Balooya bano Hamphrey Tumwesigye, okulimba nga bw’ataggya kusobola kubeerawo kuwulira musango guno kubanga yabadde ayitiddwa Omulamuzi wa Kkooti enkulu Alex Ajiji mu musango gwa Joseph Ssentamu kyokka obujulizi obwaleeteddwa omuwaabi wa Gavumenti Jonnathan Muwaganya ne bulaga nti ono yabadde alimba.

Okusinziira ku bwino Muwaganya gwe yaleese mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, yalaze nti ku lunaku Tumwesigye lwe yategeezezza nti alinayo omusango mu kkooti enkulu, Omulamuzi Ajiji yabaddeyo n’omusango gumu ogw’ettemu oguvunaanibwa Jude Mugumya n’abalala munaana Ssentamu kw’atali ate nga ne Balooya abagulimu ono taliiko kyokka nga n’omusango gw’agamba teguliiyo era n’omuntu agambibwa okuvunaanibwa tabangayo.

Oluvannyuma lw’okutuuka mu kkooti, Israel Wasswa omu ku bawawaabirwa yategeezezza Omulamuzi Adams Byarugaba nti Looya we Robert Ojambo yafiiriddwa mukyala wa muganda we nga tasobodde kubeerawo nga ne Balooya abalala mu musango guno okuli ne Hamphrey ne Benard Mugenyi baamuwerekeddeko.

Abawawaabirwa mu kaguli.

Abawawaabirwa mu kaguli.

Kino kyasiikudde emmeeme y’omuwaabi wa Gavumenti ng’ategeeza omulamuzi nti kisoboka kitya ate nga mu lutuula olwayita nga December 11, 2024 Tumwesigye yali yamutegeeza nga bw’agenda mu kkooti enkulu era bw’atyo n’asaba bano bakangavvulwe ku by’okulimba kkooti.

Muwaganya yayongedde n’aleeta bwino nti bano okulimba, baabadde mu lukwesukwesu olw’okugenda mu kkooti enkulu e Masindi ku by’okusaba okujulirwa kw’abamu ku bawawaabirwa Reagan Ssentongo ne Labeeb Kalifah kubanga baasingisibwa emisango mu bitundu by’e Kiryandongo kati bakola busibe kyokka nga bavunaanibwa ne guno nga bali ku limanda e Luzira.

Owaabi wa Gavumenti yasabye kkooti ekitwale nga kikulu nti singa bano baakigenderedde okulwisa omusango okuwulirwa, basimbibwe mu kakiiko akatwala Bannamateeka bakangavvulwe ku bikolwa bino ebitaggyayo kitiibwa kya mulimu gwabwe nga mwe muli n’okulimbirira omulamuzi wa kkooti enkulu.

Omulamuzi Byarugaba yategeezezza nti kkooti ye yaakukola okunoonyereza ku kino okuli n’okuwandiikira kkooti enkulu okuzuula ekituufu era bwe kinaakakasibwa nga bwe kigambibwa nti baagenderedde okulimba kkooti, baakukolebwako mu mateeka.

Guddamu January 12, 2024.