OMUJULIZI owookutaano mu gw’okulebula Pr. Kayanja atuuyanidde mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo nga Bapuliida b’abawawaabirwa bamukunya okusinziira ku bujulizi bwe yategeeza kkooti mu lutuula olwayita.
Simon Tumukunde y’atuuyanye bw’abadde akunyizibwa Balooya nga bakulembeddwamu Hamphrey Tumwesigye n’atuuka n’okwewakana Sitaatimenti gye yakola ate oluvannyuma ne yeetema engalike ng’agikkiriza n’afuna ku kalembereza.
Ono era yasooka n’ategeeza Omulamuzi Adams Byarugaba nti teyakeberebwa basawo oba yatuusibwako ebikolwa by’ekikukujju kyokka bw’akomyewo bye yayogera abadde ng’atakyabijjukira n’ategeeza nti baamukebera ekiresseewo ebibuuzo eri Bapuliida ne bagamba nti omujulizi by’ayogera yaaliba tabitegeera.
Ekirala, okusinziira ku biri mu sitaatimenti gye yakolera ku Poliisi, yali egamba nti Reagan Ssentongo omu ku bawawaabirwa yabayita okuva e Kiryandongo mu May wa 2021 okujja okubanja ssente ze baakolera ku Miracle Centre kyokka bwe yali awa obujulizi n’ategeeza nti bino byaliwo mu September wa 2021 eky’ongedde okumubuusabuusa ne by’ayogera.
Abawawaabirwa mu Kaguli.
Nga kkooti yaakatandika, waasoose kubeerawo vvaawo mpitewo nga Bapuliida bawakanya ekya kkooti okugenda mu maaso nga balumiriza oludda oluwaabi okubawa ebikwatagana ku musango ebijingirira nga kino kyavudde ku mujulizi okwewakana emu ku sitaatimenti gye yakola ng’agamba nti omukono oguliko si gugwe naye Omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya n’akiwakanya.
Omulamuzi yagobye okusaba kwa Bapuliida bano n’abalagira okugenda mu maaso n’okusoya omujulizi kubanga obudde bubadde bukyali okuzuula obulimba obuli mu bujulizi bwe.
Nga wayiseewo akaseera, Tumukunde amaze n’akkiriza sitatimenti ye n’ategeeza nti okusooka okugigaana baamulaze njokyemu (kkopi) wabula bwe bamulaze entuufu n’akkiriza oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okulungamya ku biwandiiko ebyo nti baamulaze kkopi yakyo ekyaleetedde ono obutasobola kwetegereza mukono gwe.
Bw’abuuziddwa ki ekyamuwaliriza okwekobaana okugenda okulumba kkanisa ya Pr. Kayanja yategeezezza nti banne baali baamusuubiza ssente naye bwe yalaba nga bye bamussaamu tabimanyiiko, kwe kusalawo okubeesonyiwa adde ku mazima g’amanyi amatuufu n’atuuka n’okubawaako obujulizi newankubadde yali nabo mu kulumba ekkanisa.
Israel Wasswa, nga ye yali akulira abakuumi ba Paasita Jackson Ssennyonga, Peter Sserugo, Reagan Ssentongo, Moses Ssemanobe 27, Labeeb Khalifah 22, Alex Wakamala 22, Martins Kagolo 22, Jamir Mwanda ne Aggrey Kanene be bavunaanibwa emisango gino ekigambibwa nti baagizza nga September 17, 2023.
Omulamuzi Byarugaba aguwadde ennaku endala nnya okuddamu okuwulirwa okuli olwa nga December 13, 2023, January 12 ne 29, 2024 ne February 7, 2024.