Omugga ogwabimbye ne guwaguza e Mbale gusse 3!

ABANTU basatu be baafudde, omugga Nabuyonga bwe gwabimbye ne guwaguza ne gwera olutindo oluvannyuma lw’enkuba ey'amaanyi okutonnya nga tesalako.

Omugga ogwabimbye ne guwaguza e Mbale gusse 3!
By Faisal Kizza
Journalists @New Vision
#Nkuba #Kubimba #Mataba #Mbaale #Kuwaguza #Mataba kusukka

ABANTU basatu be baafudde, omugga Nabuyonga bwe gwabimbye ne guwaguza ne gwera olutindo oluvannyuma lw’enkuba ey'amaanyi okutonnya nga tesalako.

 

Bino byabadde mu Lumumba Cell mu Nothern Division e Mbale, nnamutikkwa w’enkuba bwe yatonnye mu kiro ekyakeesezza olwa Mmande, okukakkana ng’abantu basatu bafudde.

 

Abatuuze baategeezezza nti enkuba yabaddemu kibuyaga ow’amaanyi yatandise kiro era yayonoonye birime ng’abantu beeraliikirivu olw’enjala gye bagamba nti yaakubazingako.

 

Abaafudde kuliko; Sadrack Muduulo 50, ne muwala we Olivia Nagudi 12 nga bano amazzi gaakubye ennyumba mwe baabadde beebase ne bafiiramu.

 

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon, SP Rogers Tayitika yagambye nti waliwo omulambo omulala ogwannyuluddwa e Nalugugu mu Sironko, wabula ng’omugenzi teyasangiddwa na bimwogerako era gwatwaliddwa mu ggwanika e Mbale.

 

Abatuuze baagambye nti olumu ku ntindo ezaayonooneddwa lubadde luddaabirizibwa oluvannyuma lw’okukosebwa amataba mu 2022.