Omugave Ndugwa alese abaana 20

19th July 2022

MUNNAKATEMBA Omugave Ndugwa Ssemakula 66, alese abaana 20, ne bamutendereza okumanya omugaso gw’okuweerera.Ndugwa wadde yazaala abaana bangi, abasinga balina emirimu egy’amaanyi mu bitongole eby’enjawulo abalala bali mitala w’amayanja.

Omugenzi Ndugwa
NewVision Reporter
@NewVision
63 views

MUNNAKATEMBA Omugave Ndugwa Ssemakula 66, alese abaana 20, ne bamutendereza okumanya omugaso gw’okuweerera.
Ndugwa wadde yazaala abaana bangi, abasinga balina emirimu egy’amaanyi mu bitongole eby’enjawulo abalala bali mitala w’amayanja.
Ndugwa y’omu ku baatandika ebibiina bya katemba mu Uganda mu 1978, n’ekibiina kya “Black Pearls” omuyise abazannyi ba katemba ab’amannya bangi aboogerwako ensangi zino omuli; Abbey Mukiibi, Mariam Ndagire, Kato Lubwama, Ashraf Ssimwogerere n’abalala.
Benon Kibuuka owa Bakayimbira yagambye nti Ndugwa afudde awandiise emizannyo egisukka mu 30, era ne mu Southern California gy’abadde abeera okuva mu 1998, yagenda mu maaso n’ekitone kye.
Yagambye nti Ndugwa teyakoma ku kutandikawo Black Pearls era ye yatandikawo ne River Side Theater. Bannakatemba abalala baagendangayo okulaba emizannyo gya Ndugwa ne babaako bye bakoppayo. Yawadde ekyokulabirako ky’omuzannyo ‘Ekimuli mu maggwa’. “Bwe twagulaba, enkeera twaddayo okutendekebwa nga tulabye ebigulimu.”
Kibuuka yagambye nti bagenda kusubwa nnyo Ndugwa kubanga bwe yakomawo mu Uganda mu 2020 nga Corona tannazinda ggwanga, yagenda e Mmengo n’asaba bamuwe ettaka azimbeko eddwaaliro omubadde mugenda okujjanjabirwanga basereebu bokka kubanga batya okugenda mu malwaliro amalala era ne balimuwa.
Ashraf Ssimwogerere ku lw’abazannyi ba Black Pearls, yagambye nti basubiddwa omuntu abadde teyeegulumiza nga bboosi wabula nga buli omu amutwala ng’omwana.
Yagambye nti abantu bangi abayise mu ngalo ze naye ne bamalira mu bulamu obulungi nga mulimu n’abafuuse ababaka ba palamenti okuli; Kato Lubwama ne Rev. Bakaluba Mukasa.
Mukyala we Elizabeth Ssemakula yatenderezza bba olw’okubeera omusajja alina omukwano nga teyeegulumiza olw’ebitiibwa bye kubanga n’awaka oluusi abadde abafumbira era n’awa abaana baabwe abalenzi amagezi okulabira ku kitaabwe balagenga bakyala baabwe omukwano.
Omugave Ndugwa baamusabidde mu Lutikko e Lubaga ku Mmande nga mmisa yakulembeddwa Dr. Fr. Pius Male omuwandiisi w’essaza lya Kampala. Waakuziikibwa olwaleero ku biggya bya bajjajjaabe e Kimwanyi - Masaka

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.