Bya John Bosco Sseruwu
OMUSUUBUZI wa Hardware Fred Kayiza 49 abadde omututumufu e Sseeta gwe batemudde n'ebijambiya yaziikiddwa ku kyalo Natita mu ggombolala ya Kalungu Rural mu Disitulikiti y'e Kalungu wakati mu kwaziraana.
Omukolo gw'okuziika tegwabaddeko Kitambiro kya Mmisa nga bwe kyabadde kisuubirwa era okusinziira ku Henry Ssonko ow'ekisomesa ky'e Natitta i omugenzi tabadde mujjumbize mu ddiini ye ey’Ekikatoliki ng'era n'obufumbo bwe tebubadde bwa mpeta.
Nnamwandu Ku Kkono Mu Kwazirana Emagombe.
Ku Kkono Ye Henry Ssonko Musomesa W'ekisomesa Ky'e Nattita Eyasabidde Omugenzi
"Ffe tetukulembeza ssente okusabira omufu yenna, wabula tutunuulira bunyiikivu bw'abadde alina ku ddiini ye ng'akyali mulamu, ate tekubeera kusalira mufu musango". Musomesa Ssonko bwatyo bwe yakaatirizza.
Omubaka wa Palamenti mu kitundu kino (Kalungu West) Joseph Gonzaga Ssewungu y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kuziika era yeewuunyisizza abantu bwe yagyeyo ssapule n'agyambaza omu ku bamulekwa nga bwa mukuutira obutayuugayuuga mu ddiini nga kitaawe.
Ssewungu Ng'ayambaza Mulekwa Ssappule Yamukuutidde Obutakyukakyuka.
Wabula Ssewungu yennyamidde ku ngeri omugenzi gye yattiddwamu n'agumya nti waakukwatagana ne famire okuyambako poliisi mu kuzuula abatemu nti wadde nga talina nnyo bwesige mu bamu ku bali mu byokwerinda.
Fiona Mirembe Kigundu eyakuliddemu abooluganda lw'omugenzi ono mu kwogerako eri abakungubazi yategeezezza nti omugenzi y'abadde omusika wa kitaabwe Joseph Kisuule Ssabakaaki era yamwogeddeko ng'abadde omukozi ennyo nti bonna kwe babadde balabira n'ayongerako nti abaamusse baamulanze bwemage.
Abakungubazi okwabadde ne Ssentebe wa Disitulikiti y'e Kalungu, Ahmed Nyombi Mukiibi n'abamu ku baavudde e Seeta baasabye poliisi nti ku luno efube okulaba ng'okunoonyereza kwayo ku ttemu lino kuvaamu ebibala, bazuule abatemu nti kubanga abasinga emitima gibeewanise olw'engeri omuntu waabwe gye yattiddwaamu.