Bya Joan Nakatte
Abatuuze ku kyalo Ntinda Zone ekisangibwa mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono baabuutikiddwa entiisa mu kiro ekikeesezza olwaleero,oluvannyuma lw’abatemu okutema mutuuze munnaabwe ebiso ne bamutta.
Omugagga Fred Kayiza abadde ne bizinensi etunda ebizimbisibwa eya Bukerere Ddembe Hardware, gwe batemyetemye ebiso ebyamugye mu budde.
Okusinziira kw’omu ku baliraanye ennyumba y’omugenzi ono abadde asulamu nga bwe baawulidde emiranga ku ssaawa nga zinaatera okuwera 2:00 ez’ekiro ng’omugenzi alaajana ne balowooza nti waliwo eyabadde abbibwa okuliraana ennyumba ye era ne bagezaako okudduka ebweru okulaba ogubadde.
Bayongeddeko nga bwe baasanze abavubuka babiri nga bafuluma ekikomera nga baleekanira waggulu nga bwe bali mu kugoba abasse omuntu ne batabafaako ekyabawalirizza okuyingira gye baabadde bawulira okuwoggana.
Bagambye nti eno gye baagwiiridde ku Kayiza ng’etemeddwa ejjambiya ezaasobye mu musanvu ku mutwe nga n’obwongo buyiise ku ttaka, nga n’emu ku jjambiya gye baakozesezza okumutema baagirese ku lusebenju.
Abatemu bano baagasseko n’okumutematema ejjambiya ku mikono n’omubiri gwonna era nga yabadde asigazzaako kikuba mikono.
Yabafiiriddeko ku mulyango ogufuluma geeti ye bwe babadde bagezaako okumuddusa mu ddwaaliro.
Nnamwandu lovinsa Nantaba mu kwaziirana yannyonnyodde nga bba bwe yali yamugambako nga bwe waliwo abaali baagala okumutta, oluvannyuma bazeeko ye n’abaana ekyamuwaliriza okusooka okudduka okuva mu maka gano kyokka bba we ne yeekubira enduulu eri poliisi era ne bamuwa obukuumi.
Bannabyabufuzi n’abakungubazi ab’enjawulo baakedde kweyiwa mu maka g’omugenzi okumukungubagira aba ffamire era ne balaga obwenyamivu olw’ekikolwa eky’obutemu obwakoleddwa ku munnaabwe ne basaba poliisi okunoonyereza mu bwangu abaakikoze bakwatibwe era bavunaanibwe.