Abooluganda batadde akaka ku mugagga eyattiddwa e Seeta, birimu abafamire

Enkuyanja y’abakungubazi beeyiye mu maka g’omugagga Fred Kayiza abadde nnannyini dduuka eritunda ebizimbisibwa mu kabuga k’e Seeta erya Bukerere Ddembe Hardware okusabira omwoyo gwe.

Abooluganda batadde akaka ku mugagga eyattiddwa e Seeta, birimu abafamire
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Fred Kayiza

Bya Joanita Nakatte

Enkuyanja y’abakungubazi beeyiye mu maka g’omugagga Fred Kayiza abadde nnannyini dduuka eritunda ebizimbisibwa mu kabuga k’e Seeta erya Bukerere Ddembe Hardware okusabira omwoyo gwe.

Kayiza yafumitiddwa ebiso ebyamugye mu budde akawungeezi ka Mmande.

Abafamire abakulembeddwaamu Richard Kisekka batadde akaka ku nfa y’omuntu waabwe ne balumiriza nga bwe waliwo abantu b’ababadde amanyi obulungi abaamusse olw’ensonga nti amaze ebbanga eriwera ng’abategeeza nga bwe waliwo abeewerera okumutta kyokka nga taboogera mannya ne wankubadde abadde abamanyi.

Nnamwandu Lovinsa Nantaba Bwe Yabadde Ng'anyumya Ku Kuttibwa Kwa Bba.

Nnamwandu Lovinsa Nantaba Bwe Yabadde Ng'anyumya Ku Kuttibwa Kwa Bba.

Nnamwandu w’omugenzi Lovinsa Nantaba,yeeyongedde okuwuniikiriza abakungubazi ababadde beeyiye mu bungi mu maka gaabwe agasangibwa e Ntinda Zooni ku kabuga k’e Seeta, bw’annyonnyodde  nga bba bwe yasanga abavubuka babiri ku Ssande abaali bamulindiridde okumutirimbula, abaali beekwese emabega w’ekimuli mu luggya lw’ennyumba mw’abadde asula obw’omu.

Agambye nti yazza emmotoka emabega n’adduka eri poliisi n’agitemyaako nti mu baalabye,mubaddemu owooluganda lwe (amanya gasirikiddwa) gw’alabye obulungi ng’amumanyi era poliisi n’emuwerekera okumuzzaayo ewaka n’aweebwa n’abaserikale babiri okumukuuma kyokka ne bamuddukako olw’obutabasasula.

Nantaba ategeezezza ng’era bwe yamusaba gye buvuddeko ave ku by’okubanja ensimbi ze oluvannyuma lw’okumutemyaako nti mw’aabo mwe muli abazze bamwewerera okumutta oluvannyuma bazeeko ye omukyala n’abaana baabwe bonna babasaanyeewo.

Omu ku mikwano gy’omugenzi abadde nfa nfe we bwe bali mu bizinensi yeemu ey’okutunda ebizimbisibwa, Patrick Onyango Musisi, ono naye ensonga y’okufa kwa mukwano gwe agitadde ku bantu aba fitina ababadde batamwagaliza olwa ddiiru ze ennyingi z’abadde agoba ne ziyitamu era n’akaatiriza nti mu buli ngeri bagenda kuyamba ku poliisi okukwata abo bonna abeenyigidde mu kutemula omuntu waabwe.

Mu kiseera kino,poliisi ekola kyonna ekisoboka okunoonya mu ku booluganda ayinza okuba emabega w’ettemu limu nga beeyambisa ekizibiti eky’ejjambiya gye baalese ku lusebenju.