Bya Joanita Nakatte
Ebintu by’abasuubuzi ebibalirirwaamu obukadde 50 n’omusobyo byatokomose ne bisaanawo mu nnabbambula w’omuliro eyakutte ebizimbe by’amaduuka mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu e Seeta ku kyalo ekya Ntinda Zooni ekisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono.
Omuliro guno ogwalese abasuubuzi nga tebalina waakutandikira, kigambibwa nti gwatandikidde mu dduuka erimu eritunda eby’amasannyalaze wabula ng’ensonga eyaguviiriddeko okukwata tennamanyibwa.
Amaduuka agaasaanyeewo mwe muli; eritunda eby’amasannyalaze omuli; ttivvi, woofer amasimu n’ebirala ebikozesa amasannyalaze, edduuka eritunda engoye, eritunda ebintu bya bulijjo n’essaaluuni.
Yunus Bakaaki nnannyini dduuka, omuliro guno gye guteeberezebwa okusibuka, yannyonnyodde nga bwe yakubiddwa essimu ku ssaawa 7:00 ez’ekiro n’asanga ng’edduuka lye lyonna likutte omuliro n’abulwa eky’okutaasa.
Yunus Bakaaki Ng'annyonnyola.
“Mbadde naakateeka ssente mpitirivu nnyo mu dduuka lyange nga naakasuubula mu ssente omukyala ze yaakansindikira okuva ebweru naye zonna ziweddewo, simanyi kye ngenda kuzaako.” Bakaaki bwe yagambye.
Omulala ku bakoseddwa Acheng Miriam, yannyonnyodde nga bw’abadde yaakeewola obukadde munaana mu bbanka emu era nga kati ennyumba ye gye yateekayo ng’omusingo eyolekedde okutwalibwa olw'okubulwa ensimbi ez’okuzzaayo n’asaba abazirakisa okubadduukirira olw’ensonga nti tebalina waakutandikira.
Bbo abatuuze balumirizza poliisi y’e Sseeta nti yavuddeko omuliro guno okusaasaana wonna olw’okulinda emmotoka ezikiza omuliro eyamaze essaawa bbiri nga tennatuuka.
Ssentebe w’ekyalo kino, Kiva Hamidu Mulima ye alaze obweraliikirivu olw’ebyokwerinda ebiragaye ku kyalo kye, nga gye buvuddeko bwe basse abadde omusuubuzi omututumufu abadde nnannyini Hardware Fred Kayiza n’asaba babongere ku bukuumi.