Kampuni ya Billz Contactors Ltd abasangibwa e Buloba ku Mityana Road ne Ntebe road bavuddeyo ne bagula emijoozi gya mitwalo 50, ne bagigabira abantu okusobola okwetaba mu misinde badduukirire omulanga gwa Ssaabasajja ogw’okulwanyisa akawuka ka mukenenya.
Omugagga Kagimu Billz, nnannyini kampuni ya Billz yategeezeza nti ensonga za Buganda zikwata ku buli muntu awatali kusosola mu mawanga wadde eddiini naddala bw'otuuka ne ku mulwamwa gw’omulundi guno.
Omugagga Bill ng'akwasa owa bodaboda omujoozi
Kigobero ku lwa Vision group yasiimye aba Billz n'ategeeza nga bw'eri enkola ya kampuni ya Vision Group enteekateeka eno yaakugenda mu maaso ng’etambula eri abo abagula mu bungi abakozi ba Vision Group bagenda kubeera nga bagibasanza webali ng’eno kamera za kampuni bwe zibakwata.
Emijoozi gitundibwa ku kitebe kya kampuni ya Vision Group mu Industrial Area, ku maduuka ga Airtel, ku matabi ga bbanka ya DFCU, ku ssemadduuka wa Freeman Hypermaket mu Kampala ne ku Bulange e Mmengo.
Kigobero ng'akwasa Billz emijoozi