Amawulire

Omugagga eyazibye oluguudo e Muyenga apanga kuzimba

OMUGAGGA eyazibye ekkubo e Muyenga apanga kuzimba wakati mu kuwakanyizibwa okuva mu bagagga banne.

Ttulakita eyaleeteddwa okusenda ekkubo. Mu katono ye mugagga Nibamanya.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Meddie Musisi

OMUGAGGA eyazibye ekkubo e Muyenga apanga kuzimba wakati mu kuwakanyizibwa okuva mu bagagga banne.

Ensonda mu KCCA zaategeezezza nti omugagga Isaq Nibamanya ennaku zino zonna abadde yeetala mu ofiisi y’avunaanyizibwa ku kuwa olukusa oluzimba mu Kampala (Physical Planner) asobole okutandika okuzimba mu kifo kye kino.

Wabula bagagga banne okuli Immaculate Ayebazibwe baweze obutamukkiriza kuzimbawo nga bakozesa amateeka.

Ayebazibwe ne banne bagamba nti Nibamanya akozesa lukujjukujju asobole okuzimba mu kifo bbo lye bayita ekkubo eribatwala mu maka gaabwe.

Oluguudo oluliko enkaayana luyitibwa Panalama Close nga lusangibwa ku Muyenga Tank hill. Oluguudo luno luludde nga luliko akanyoolagano wakati w’abagagga abalukozesa nga bawakannya ekya Nibamanya okuluziba.

Ku Ssande akanyoolagano keeyongedde mu kifo kino Nibamanya bwe yaleese ttulakita n’esenda ettaka n’aziba ekkubo.

Abamu ku bagagga baasobeddwa bwe baatuuse mu kifo kino ng’ekkubo lizibiddwa ne babulwa aw’okuyita. Nibamanya agamba nti ekifo bagagga banne lye bayita ekkubo lyabwe, akirinako obwannannyini.

Gye buvuddeko, abagagga bano katono ebifuba bibabugume mu kifo kye kimu abakungu ba KCCA bwe baagenzeeyo ne bawa ekiragiro ekikyusa ekkubo erigenda mu bagagga bano.

Town clerk we Makindye, Janat Mutaawe ye yawadde ekiragiro kino ng’ali wamu n’abakugu abavunaanyizibwa ku kitongole ekiwa olukusa okuzimba.

Okusinziira ku Ayebazibwe, ensonga z’ekkubo lino baludde nga bazituulamu n’abakungu ba gavumenti abatali bamu.

Ssentebe wa LC II e Kansanga Francis Seguya yagambye nti baludde nga batuula mu nsonga z’ekkubo lino era baali baasalawo ekkubo lisigale nga bwe liri.

Tags:
omugagga
azibye
oluguudo
Muyenga
kuzimba