MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja asiimye Pulezidenti Museveni olw’okumanya obukulu bw’amasiro mu Buganda n’akkiriza okugazimba.
Yasinzidde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ekubirizibwa Terah Kaaya. Mayanja yagambye nti yalambuddeko Amasiro ga Ssekabaka Kagulu Tebucwereke e Mende mu Busiro ge yasanze ng’ettaka lyago lyonna litundiddwa liweddewo. Amasiro gano gaazimbibwa Ssekabaka Daudi Chwa oluvannyuma lw’okulwala obulwadde nga tebuwona ne bamulagula asooke azimbe amasiro ga Ssekabaka Tebucwereke era n’agassaawo. Amasiro gano gaalina yiika 91, kyokka waliwo eyeekobaana ettaka n’aliguza Silvano Kakugu eyatandika okulisalamu ebitundu nga bw’alitunda. Amasiro gennyini yasooka n’agalekerako yiika 14 era n’agenda ng’akendeeza n’abaami abalala abalina ettaka eddene ng’alina yiika 8 amusalako 5 n’amulekera 3.
Pulezidenti Museveni yafuna eyamukubira enduulu ku ttaka ly’Amasiro ga Ssekabaka Tebucwereke eryali liggwaawo era n’asindika minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti Milly Babalanda.
Ekyaddiridde yasindise minisita Mayanja eyabadde ne RDC w’e Wakiso, Justine Mbabazi n’abatwala ebyokwerinda ne bagenda ku ttaka. Pulezidenti yasuubizza nga bw’agenda okuzimba Amasiro ga Buganda gonna baleme kukoma ku kya kulaakulanya
g’e Kasubi gokka. Mayanja agamba nti Kakugu tasobola kusala ku bibanja by’abantu kuba obuyinza tabulina.
Omuntu ne bw’oba n’ekyapa nga ku ttaka kuliko abeebibanja, tekitegeeza nti tebalina bwannannyini.
Oweekyapa ky’osinza oweekibanja kya kuba nti osobola okukitwala mu bbanka ne bakuwola n’ekirala nti bw’oba otunda nga tekuli basenze, tolina gweweebuuzaako. Ebisigadde byonna muba mwenkanya obuvunaanyizibwa ku ttaka eryo.
Etteeka ly’ettaka erya Land Act, 36 (9) ligamba nti okukyusa obwannannyini bw’ettaka olw’okuba waliwo aliguze, alisikidde oba gwe baliwadde, tekikosa bwannannyini bw’abantu balibeerako.
Mu mbeera eno omugagga ne bw’aba nga yafuna ekyapa ku ttaka ly’Amasiro, talina buyinza bukwata ku bibanja by’abantu mbu alikendeeza.
Era bw’akendeeza ekibanja ky’omuntu kyonna, bubeera bubbi.
Bw’aba ng’Amasiro yagasanga ga yiika 14, talina kugakwatako nti akendeeza. Obwo bubbi kuba etteeka weeriri. Minisita Mayanja yalagidde buli waakibanja adde ku kibanja kye nga bwe yakirina mu bujjuvu. Abassaako enkulaakulana ng’ebizimbe birina kuddira bannannyini bibanja olwo abaazimbako banoonye Kakugu abaliyirire.
Eby’okuzimbako we bitakolera lwa nsonga nti mu tteeka, obuguzi okubeerawo walina okubaawo atunda n’agula nga bonna beeyagalidde tewali gwe bakase. Bbeeyi
y’ettaka yennyini erina okubang’etuukana n’akatale mu kitundu. Minisita yagambye nti
kyapa singa kyabadde ku ttaka lya Gavumenti, yandibadde yalagidde dda ne bakisazaamu kuba etteeka terikkiriza kakiiko ka District Land Commission kugaba kyapa ku ttaka eririko abasenze, ery’olutobazzi oba nga kuliko ekibira. “Nawulidde ku leediyo nga Kakugu annyanukula nti bwe bataamuliyirire buwumbi 25, ajja kutwala abeebibanja mu kkooti.n Njagala okumugamba amateeka gagamba nti oweekibanja tolina kumukwatako,” Mayanja bwe yagambye.
Yalabudde ne ku bukodyo obulala obweyambisibwa bannannyini ttaka okugoba abeebibanja ng’okubasuulira emitwe gy’enkoko. Bwe balaba ebyo nga badduka nga
bagamba omusajja tajja kusoboka ekivaamu ng’abatwalako ebibanja byabwe