Amawulire

Omusomo gwa Pakasa gwa weekend eno

OMUSOMO gwa Pakasa ogwokubaawo ku Lwomukaaga luno, gwongeddwamu ebbugumu, abagagga bwe boongedde okugwegattako ,basomesa abantu, n'okubawa amagezi.

Omusomo gwa Pakasa gwa weekend eno
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUSOMO gwa Pakasa ogwokubaawo ku Lwomukaaga luno, gwongeddwamu ebbugumu, abagagga bwe boongedde okugwegattako ,basomesa abantu, n'okubawa amagezi.

Leero, Omugagga Agha Sekalaala Jnr , akulira kampuni ya Ugachik e Majiije, agambye nti, wakwegatta ku musomo guno, annyonnyole abantu ku bintu eby'enjawulo ebikwata ku business .

Ategeezezza nti , emyaka egosiba mu 30, gy'amaze ng'ali mu mulimu guno, ayize bingi era n'asuubiza okuyigiriza abanaagwetabamu engeri y'okuwangaaza business naddala nga ya family.

Ebirala by'ayogeddeko, mwe muli okukuuma ebiwandiiko, okulabirira business  n'obutenyooma naddala eri abo abatandika

Ttiimu okuva mu vision group, ekulembeddwamu akulira digital, Penlope Nankunda, akulira omuko gwa PAKASA mu lupapula lwa The New Vision Moses Mulondo, ne Sydney Miria n'abalala bamukyaliddeko leero.

Basiimye Omugagga Sekalaala olw'enkulaakulana n'etoffaali ly'agasse ku ggwanga , mu kugabira abantu emirimu .

Omusomo gwa Pakasa, gwakubaawo ku Lwomukaaga  nga Nov 22 e Butabika ku kitebe ky'ekitongole Enterprise Uganda . Okuyingira , kwabwereere .

Ku bataddemu ssente mu musomo guno mulimu aba Enterprise Uganda, Centenary bank , NSSF, Pearl Bank, Min ya by'ensimbi.

Tags: