Omubaka Ssewungu aggyewo obunkenke mu batuuze ababadde basuliridde okugobwa ku byalo 3 e Kyamuliibwa

ABATUUZE ku byalo bisatu Kigasa B,C ne E mu ggombolola y'e Kyamuliibwa Rural e Kalungu emitima gibazze mu nteeko bwe bafunye essuubi ly'okusigala ku bibanja byabwe kwe babadde basuliridde okugobwa abagagga, be balumiriza okwegwanyiza ettaka lya Gavumenti kwe bawangalidde ebbanga lyonna.

Omubaka Ssewungu ng'agumya abatuuze b'e Kigasa ku by'ettaka.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Ssewungu #okugobwa #Kyamuliibwa #abatuuze #ttaka

Bya John Bosco Sseruwu 

ABATUUZE ku byalo bisatu Kigasa B,C ne E mu ggombolola y'e Kyamuliibwa Rural e Kalungu emitima gibazze mu nteeko bwe bafunye essuubi ly'okusigala ku bibanja byabwe kwe babadde basuliridde okugobwa abagagga, be balumiriza okwegwanyiza ettaka lya Gavumenti kwe bawangalidde ebbanga lyonna.

Bano baddukira ew'omubaka wa Palamenti ow'ekitundu kino ekya Kalungu West, Joseph Gonzaga Ssewungu nga beemulugunya ku bagagga babiri Abudunulu Muteyanjula ow'e Nyendo mu Masaka ne Badru Sserumaga omutuuze ku kitundu kino nti baali beekobanye ne Ssentebe w'eggombolola eno Eria Mbaalala Liiso lya Ngege okufuna ebyapa ku ttaka lino nti oluvannyuma babagobaganye.

Mu lukiiko olwasooka Ssewungu yabasuubiza okulondoola ensonga eno era kye yatuukirizza nga yeeyambisa abakugu okuva mu minisitule y'ettaka, abaapimye ettaka lino ne bazuula ekituufu.

Alipoota gye yawadde abatuuze abeetabye mu lukiiko lwe yazzeemu okuyita, yagambye nti tewali kyapa kyonna kyazuuliddwa nga kibadde kikubiddwa ku ttaka lino, kyokka  n'abasaba obutasumagira nga bakuuma ebibanja byabwe ng'eno bwe beetekateeka okufuna ebyapa nti bongere okunyweza obwanannyini obubaweebwa ssemateeka ku ttaka ly'ekika kino erimanyiddwa nga Public Land.

"Wadde temunafuna byapa ku ttaka lino, naye tewali kye mufiirwa nga musiimbye empaanyi ku nsalosalo y'ebibanja byammwe ng'emu ku ngeri etandikirwako okwekuumirako,"Ssewungu bwe yakuutidde abatuuze.

Yakaatirizza nti ekituufu waabaddewo olukujjukujju olwabadde lupangiddwa abantu abamu n'ekigendererwa ky'okwekomya ettaka lino nti batandike okusolooza obusuulu eyo mu maaso, n'asaba atwala poliisi y'e Kyamuliibwa ASP Anthony Kasolo ayite abagagga bano bannyonnyole ku biwandiiko ebitandikirwako okugoba ku byapa ebyazuuliddwa nga biriko emikono gyabwe n'endagamuntu.

Yasuubiza okutwala Minisita w'ettaka, alambule ekitundu kino n'okwongera okulambululira abatuuze ku bikwata ku ttaka lya Gavumenti nabo kwe batudde.

Ssentebe w'eggombolola eno Mbalala yayongedde okusambajja mu maaso g'abatuuze ebigambo ebimwogerwako nti yeekobaana n'abagagga abaagala okubafuula emmomboze n'agamba nti tasobola kwenyigira mu mivuyo giteeka bantu ba mu kitundu ku bunkenke  naye kwe bamuzaala.

Ssentebe wa Disitulikiti y'e Kalungu, Ahmed Nyombi Mukiibi Kamaadi naye yasinzidde mu lukiiko luno n'alabula abakulembeze ba LCI okwewala okukozesebwa ensobi naddala mu nsonga nga zino ezisattiza abatuuze n'abasaba okukozesa obulungi obuyinza bwabwe.