Eby’abaana abaafudde nga bava okulambula bituuse mu Palamenti;Ebyabadde mu kuziika omu ku baana

OLUTUULA lwa Palamenti ku Lwokusatu lwagguddewo na nsonga y’abayizi b’essomero lya Daystar Junior School e Makindye abaafudde nga bava okulambula e Kasese ne Fort Portal.

Abakungubazi mu kuziika Ronah Kakembo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OLUTUULA lwa Palamenti ku Lwokusatu lwagguddewo na nsonga y’abayizi b’essomero lya Daystar Junior School e Makindye abaafudde nga bava okulambula e Kasese ne Fort Portal.
Omubaka wa Kalungu West Joseph Ssewungu asabye Minisitule y’ebyenjigiriza ennyonnyole Palamenti ku mitendera amasomero gye gayitamu okutegeka okulambula
kw’abayizi.
Okusaba kuno yakukoledde mu Palamenti ku Lwokubiri ng’ayogera ku nsonga eziruma abantu, ne yeewuunya engeri amasomero gye gategekamu okulambula kw’abayizi ensangi zino, omuli okulonda ebifo gye bagenda,  n’abayizi kika ki abateekeddwa
okugendayo.
Mu lutuula luno olwakubiriziddwa Sipiika Anita Among, Ssewungu nga ye minisita w’ebyenjigiriza ku ludda oluvuganya yeewunyizza lwaki abayizi ba Pulayimale
baabadde batwalibwa mu bitundu nga Kasese, gattako n’okubatambuza amatumbi budde
Ssewungu yalaze n’okutya nti amasomero agamu galeega abazadde ssente ezisasulwa okutwala abayizi okulambula, nga oluusi zisinga n’ebisale by’esomero, ekintu ekitali kituufu.
Sipiika Among yagambye nti ensonga eno erina okutwalibwanga nkulu, kubanga waliwo abateeka abaana ku mmotoka ezitikka amatooke (loole) nga batwalibwa okulambula, ekiteeka obulamu bwabwe mu mattigga. Yagambye nti waliwo n’amasomero agatwala abayizi okulambula wabweru w’eggwanga ekivaako okuleega abazadde ebisale kyokka nga n’abamu tebazisola.
EBYABADDE MU KUZIIKA KAKEMBO
Abakungubazi abeetabye mu kuziika omu ku bayizi ababiri ab’essomero lya Daystar Junior School erisangibwa e Makindye mu Kampala abaafiiridde mu kabenje bwe baabadde bava e Kaseese okulambula baakwatiddwa ennaku nga babategeeza bwe byazze. Ronah Kakembo (10), abadde asoma P7 yaziikiddwa abantu bangi ddala ku Lwokubiri ku kyalo Bukooza-Nakanyonyi ekisangibwa mu Nakifuma-Naggalama TC, mu disitulikiti y’e Mukono.
Kakembo, muwala wa Irene Nansikombi nga ye mukulu w’essomero lya Daystar ne Joshua Kakembo.

Ono yafudde ne muyizi munne, Pamela Nabasumba (P.5) nga bano emmotoka gye baalimu bbaasi nnamba UAP 829U eya HMK Transporters Ltd yawaba n’egwa ne yeevulungula emirundi ena bwe baali bava okulambula e Kaseese ng’akabenje baakafuna ku Ssande ku makya mu bitundu by’e Zigoti ku luguudo oluva e Mityana okugenda e Mubende ku maliiri ssaawa nga 11:30.
Nansikombi nga ye maama w’omugenzi, nga mu kiseera kye kimu yategeezezza nti ye mukulu w’essomero lino, yannyonnyodde nti yalaba bbaasi ng’eva ku kkubo n’alowooza nti oba ddereeva yali awugula kinnya, nga yagenda okudda engulu ng’awulira yeefuula olwo ye ne ddayirekita w’essomero, Jude Nyanzi, mu kiseera kino gwe yayogeddeko ng’ali mu kkoma ne bakuba enduulu wadde nga waabulayo ataasa olw’obudde okuba nga bwali bukyali kiro.
Yagambye nti yalaba nga waliwo abaana abaali bamaze okufa wabula nga teyasooka kutegeera ng’ate n’owuwe mwe yali, ng’oluvannyuma yakimanya naye Katonda n’ayongera okumuwa obuvumu okwongera okutaasa abaana abalala.
Wabula yategeezezza nti oluvannyuma lw’essaawa ng’emu nga bakola butassa mukka butassa mwoyo, naye amaanyi gaamuggwa olwo naye n’alyoka agenda mu ddwaliro okwekebejjebwa. Yatangaazizza nti ebyogerebwa ku mikutu gya ‘social media’ nga bbaasi bwe yali etisse abaana abasukka mu kikumi nti si bituufu n’agamba nti abayizi baali tebawera na 90. Yategeezezza nti Kakembo abadde mwana wa byewuunyo
ng’ayagala nnyo Katonda ku myaka emito gy’abaddeko